TOP

Basse abawala ba yunivasite Abacongo 2

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2019

ABAWALA babiri babazingizza mu kisenge ne babatta, emirambo ne baleka nga bagisibidde mu nnyumba! Bombi babadde ba mukwano era kigambibwa nti baakwataganira ku yunivasite e Kansanga (International University of East Africa) gye baasisinkana emyaka ebiri emabega.

Tunda 703x422

Njiba ne Safi abaatemuddwa

Baabattidde Mengo mu Kakeeka Zooni era kigambibwa nti eyabasse yasoose kukubira omu ku bawala essimu ng’amuyita!

Omuwala baagenze okumukubira essimu ng’ali Bwebajja ne mukwano gwe era yasazeewo agende ne mukwano gwe okusisinkana omusajja eyakubye essimu, wabula bombi ne babatta lumu! Emirambo baagizudde gimaze mu kisenge ennaku bbiri.

Baabatta Lwakutaano kyokka emirambo ne bagizuula ku Ssande ekiro oluvannyuma lw’omukuumi w’ekikomera okwekengera ng’alaba ennyumba yasibwa teri agiggula okumala ennaku bbiri ate nga munda awulirayo ekiwunya.

Abattiddwa ye Hulda Njiba 23, ne mukwano gwe abadde amanyiddwa nga Safi.

Emirambo gyabwe gyaggyiddwa mu kisenge mwe baabattira ne bagitwala e Mulago ku ssaawa 4:00 ez’ekiro kya Ssande okwongera okwekebejjebwa.

Emirambo gyombi tegyabaddeko kiwundu era kiteeberezebwa nti bombi baatuze batuge.

Kiteeberezebwa nti omutemu yasoose kubawa byakulya ebirimu kalifoomu ne bagonda, olwo n’alyoka abatuga, omu kw’omu.

Omulambo ogumu gwabadde gugalamidde kyabugazi ku buliri ate omulala ogwa Njiba nga gukuluddwa ne gusuulibwa okuliraana akasitoowa k’ekisenge era guno gwabadde bukunya.

Omulambo ogwabadde obukunya baagusanze gukutte ekiso mu mukono ogwa ddyo, kyokka abeebyokwerinda bateebereza nti ekiso kino omutemu ye yakireese n’akiteeka mu mukono gw’omugenzi okussaawo embeera erowoozesa nti ono yesse bw’essi oba baamusse alwana, kubanga omulambo tegwabaddeko kisago yadde ekimu!

BAKUTTE OMUVUBUKA AGAMBIBWA OKUBA MU LUKWE

Omuvubuka Bob Francy nnannyini muzigo mwe battidde abawala bano, ye yasoose okukwatibwa.

Abadde apangisa ku nnyumba za Ruth Nampinge era kigambibwa nti abadde yaganza omu ku bawala bano Njiba.

Racheal Nsaba muto w’omugenzi Njiba yagambye nti Bob yabakyaliddeko e Bwebajja we babadde babeera ne Njiba mu mayumba ga Akright era wiiki bbiri eziyise era lwe yasoose okulaba omuvubuka ono.

Kigambibwa nti Njiba ne Bob baludde nga baagalana okuviira ddala mu Haaya gye baasomera bombi mu D.R Congo nga tebannajja mu Uganda.

Micheal Ssebuliba omukuumi w’ekikomera Bob w’abadde apangisa yagambye nti omulenzi ono abadde atera okukomawo n’omuwala ono nga bali mu mukwano era nga basula bombi mu nnyumba eyo. Abadde yaakamala omwezi gumu ng’abeera mu nnyumba eyo.

Abeebyokwerinda bateebereza nti Bob yafunye obutakkaanya ne Njiba era n’amuyita ekiro ky’Olwokutaano nga yakoze pulaani emutta.

Omuwala kirabika nga yabadde yeekengedde olw’obutakkaanya bwe yabadde alina ne Bob kwe kusaba mukwano gwe Safi amuwerekereko, wabula bombi ne battibwa lumu.

Bonna nzaalwa z’e Congo kyokka babadde bamaze emyaka egiwera mu Uganda ng’abawala basomera wano era n’omuvubuka naye nti w’abadde asomera mu yunivaasite.

Wadde Bob abadde amanyiddwa ng’omuyizi, wabula abeebyokwerinda okuli poliisi ne ISO baazudde nti abadde muserikale mu poliisi y’e Congo era mu kumukwata baamusanze ne densite ya poliisi y’e Congo.

Mu kisenge mwe baabattidde baasanzeemu amacupa ga bbiya, cipusi n’ennyama ebiteeberezebwa okuba ng’omutemu mwe yatadde kalifoomu eyagonzezza abawala.

Leediyo y’omu kisenge ebadde eyogerera waggulu okuva ku Lwokutaano ekiro okutuusa lwe baamenye omuzigo nga kiteeberezebwa nti omutemu yagyongeza mu bugenderevu waleme kubaawo awulira kulaajana kw’abawala bano.

Ssebuliba yagambye nti okuleekaana kwa leediyo ate nga teri afuluma wadde okuyingira ennyumba okumala ennaku ebbiri nakyo kyabayambye okwekengera ne bayita abeebyokwerinda mu kitundu nga bakulemberwa owa Difensi Bob Tebikoma era bwe baalabye emirambo munda, ne bayita poliisi.

Bob yakwatiddwa ng’akomyewo ku muzigo guno eggulo ku makya nga kigambibwa nti yabadde yeerabidde paasipooti ye nga gy’akimye yeeyongereyo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti banoonyereza ku Bob era ali mu mikono gy’abebyokwerinda. Emirambo gikyali Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo