TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basajja ba Kayihura abalala 7 bavunaaniddwa kkooti y'amagye

Basajja ba Kayihura abalala 7 bavunaaniddwa kkooti y'amagye

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2019

KYADDAAKI abaserikale ba Poliisi mukaaga okuli n’omujaasi omu, basimbiddwa mu kkooti y’amagye e Makindye nebaggulwako emisango gy’okukozesa obubi eby’okulwanyisa, okuyambako mu kuwamba bannansi ba Rwanda n’okubawaliriza okubazza mu nsi yaabwe nga tebesiimidde.

Court4 703x422

Herbert Muhangi, eyali akulira poliisi ya Flying Squad ne Col Ndahura ( mu byambalo by'amagye), ne Muhangi mu kaguli ka kkooti y'amagye e Makindye gye baavunaaniddwa ne bofiisa ba poliisi abalala.. Ebifaananyi bya MARGRET ZALWANGO

Bya Stuart Yiga

Kinajjukirwa nti, bano baali ku fayiro yeemu n’eyali aduumira Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura wabula ye n’ayimbulwa ku kakalu ka kkooti era nga kati yeyanjula buli mwezi era nga yaweebwa n’obukwakkulizo obulala okuli n’obutakkirizibwa kulinnya kigere wabweru wa Kampala oba wabweru w’eggwanga okujjako ng’asoose kuweebwa lukusa kuva mu bakamaabe.

Oludda oluwaabi nga lwakulembedwaamu Maj. Raphael Mugisha,  era nga mumpaabaye eyasooka Kayihura yeeyali asooka ku lupapula olwo basajjabe omusanvu nebagoberera.

uhangi ngafuluma kkooti yamagye e akindyeMuhangi ng'afuluma kkooti y'amagye e Makindye

Bano kuliko; eyali aduumira ekitongole kya Poliisi ki  ‘Flying Squad Unit’ (FSU) Herbert Muhangi, Nixon Agasirwe,  Col. Richard Ndahura Atwoki, Richard Ndaboine, Patrick Muramira, Jonas Ayebaza, ne Abel Kitagenda.

Bano emisango gyebasomeddwa akulira kkooti y’amagye Lt. Gen.Andrew Gutti , wabula emisango nebagyegaana.

Okusinziira kuludda oluwaabi, abavunaanibwa baalemerera okukuuma eby’okukwanyisa bya gavumenti ebyali byabaweebwa okukola emirimu gyayo nebatuuka n’okuwa ab’ekibiina kya Boda boda 2010, ekyali kikulemberwa Abdullah Kitatta, emmundu mungeri eyali emenya amateeka.

 

Oludda oluwaabi bano lubalumiriza nti emisangi gino baagizza wakati w’omwoka gwa 2010 ne 2018, ssonga emisango gy’Abanyarwanda okwali Joel Mutabazi, Jackson Kalemera ne Innocent Kalisa, baagizza wakati w’omwaka gwa 2012 ne 2016.

B’ofiisa omusanvu baalagiddwa okuzzibwa mu kkomera ly’amagye gye babadde bakuumirwa okuva lwe baakwatibwa mu mwezi gw’omukaaga omwaka oguwedde okutuusa lwebalikomezebwaawo mu kkooti yeemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo