TOP

Ebyokwerinda binywezeddwa ku kivvulu kya King Saha

By Martin Ndijjo

Added 8th January 2019

Poliisi erabudde abakozi b’efujjo n’abbo abasuubira okwenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka ebirala obuteetantala kulinnya mu kivvulu kya King Saha.

Sa 703x422

Bashir Ssempala ku ddyo addiriddwa King Saha

ku Lwokutano luno (January 11, 2019) kigenda kutokota nga si kisaanikire mu kisaawe kya Rugby Grounds e Lugogo King Saha amannya ge amatuufu ye Manisoor Ssemanda bwanaba akuba abawagizi be emiziki mu kivvulu kyatuumye 'Biri Biri concert'. Okuyingira 20,000/-, 50,000/- ne 1,000,000/- emmeeza.

 abasirikale ba poliisi ne ing aha mu lukungaana lwa annamawulire abasirikale ba poliisi ne King Saha mu lukung'aana lwa Bannamawulire

Bashir Ssempala amyuka omuddumizi wa poliisi mu buvanjuba bwa Kampala ng’ayogera eri Bannamawulire mu kifo awagenda okubeera ekivvulu kino, asoose kulabula abo bonna abasuubira okukola efujjo oba okwenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka nti bakukwatibwa baggalirwe.

“Ebintu twabigonza ekkomera kati tutambula nalyo. Mmotoka tubeera nayo bulindaala okuggalira abbo be tukutte.”

Yagasseko nti “tumaze okwekenennya empapula za King Saha zonna ezeetagibwa okufuna olukusa okutegeeka ekivvulu yazifunye kati tulindiridde lunaku lwa kivvulu okuwa abaddigize obukuumu basanyuke mu mirembe.

Ye Saha ategezezza nga bw’ali mu mbeera enungi era yeetegese ekimala okukuba emiziki.

“Ebigambo ebyange biba bitono nsinga kumanya ku yimba. Mbakowoola mwena abawagizi bange n’abawagizi b’ensike y’okuyimba mujje mu bungi tusanyukire wamu.

Ekivvulu kino ekitegekeddwa aba Humble Management kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600