TOP

Meddie ne Baxx bazze kusitula nsike y'abali b'obulamu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2019

Ab'omukwano Meddie Kabangala ne Baxx begasse ku bavubuka abali b'obulamu okucamula abaddigize.

Me1 703x422

Meddie (ku kkono) ne Baxx

NGA Abasama abajja okuwuumulako n’okulya ennaku enkulu batandise okuddayo oluvannyuma lw’egandaalo lya Ssekukkulu okugwako,

abakyakaze n’abavubuka abeetanira enisike y’okulya obulamu batandise okwebuuza oba  ddala banaddamu okunyumirwa obulamu nga bwe gwalinga ku mulembe g’omugenzi Ivan Ssemwanga oluvannyuma lw’abbo abaliwo okulemererwa okubacamula omwaka guwedde era obubaga obusinga obwategekeddwa tebwajjumbiddwa.

 eddie abangala ku kkono ne mukwamo gwe Meddie Kabangala (ku kkono) ne mukwamo gwe 

Ronald Mugumya omu ku bavubuka abatagwa mabbaala g’omu Kampala yatuuse n’okugamba nti “ddala awatali Ssemwanga tunaddamu okulya ku ‘ssappe’ ne ssente bannange ng’ensi erabye anti ono ye yaali kabaka w’eswagga obulamu bw’okulya ssente mu Kampala kwe bwali butambulira abalala bali ku byabwe ate ab’omwaka guno batusaze nnyo!”

Bano babadde bakyali mu kwekubagiza ate ne wafubutukayo abavuubuka abeeyise the ‘The Royal Money Team’ abagamba nti bazze kusituula nsike y’okulya bulamu erabika nga egudde. 

 axx ngali kwemu ku mmotoka ze Baxx ng'ali kw'emu ku mmotoka ze

Bano nga bakulembeddwamu Meddie Kabangala (muto wa SK Mbuga) ne Baxx William Kimbugwe okuva e South Africa nabbo abeeyita abagagga abato olw’okuyiwaayiwa ssente n’okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi basuubiza okunnaza ku baddigize ennaku bagenda kuba bakola obubaga obumalako omwaka okufaananako okufaananako ne Ssemwanga.

Kyokka bagamba nti bagamba nti ekibiina kyabwe tekikoma ku kya kulya bulamu, n’okuyamba abavubuka okwekulaakulaanya era balina n’enteekateeka z’okutandiikirawo abavubuka emirimu kuno.

“Tekirimu sitaani kulya bulamu kubanga ssente tuzirina era tuizikola naye kya buvunannyizibwa nga ffe abasobodde okukola okuyamba abbo abali mu bwetavu n’okukwata ku bavubuka abalalaa ku mukono era mu maaso awo tujja kuba tubanjjulira enteekateeka zaffe mu bujjuvu.” Kabangala avuga mmotoka ezenjawulo okuli nnamba puleti mu mannya ga Meddie K bweyagambye.

Ate ye Baxx bwe namubuuzizza oba ddala bye bogera si bya kwesooma ne gye babadde okuvaayo kati,

Yazzemu nti “tubaddewo era okumala ebbanga tubadde tujja buli December ne nnaku enddala ne tulya obulamu kubanga buli lwe tujja mu Uganda tubeera tuzze kuwuumula naye nga tulina ebirala bye tukola.

Kyokka oluvannyuma lwa ‘bakulu baffe’ mu nsike eno abamu okusirika n’abamu nga Ssemwanga okutuffako tukirabye nga kye kiseera okuddamu okusituula ekintu era mu December mutulinde.

Baxx mutuuze w’e Sandton South Africa akola emirimu egyenjawulo omuli n’obusuubuzi era akolera ne mukkampuni ya New Trading Enterprise ate Kabangala naye akola emirimu egyenjawulo mu kibuga Pretoria gy’abeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600