TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abeebijambiya basse 3 e Kyotera: Abaayo bali ku bunkenke!

Abeebijambiya basse 3 e Kyotera: Abaayo bali ku bunkenke!

By John Bosco Mulyowa

Added 9th January 2019

ABEEBIJAMBIYA bongedde okuteeka abantu mu bitundu by’e Masaka ku bunkenke, bwe balumbye Kyotera ne batta abantu abalala basatu.

Abatuuzemunnaku3 703x422

Abatuuze nga bali mu nnaku etagambika

Ku mulundi guno baalumbye ebyalo bibiri mu ggombolola y’e Kabira mu disitulikiti ey’e Kyotera.

Wiiki ewedde ng’abantu beetegekera okuyingira omwaka omuggya, abeebijambiya baalumbye ekitundu ky’e Masaka ne batta Jalia Nakajigo ku kyalo Kakoma e Kaliisizo ne batema n’abantu abalala basatu e Masaka.

ENGERI GYE BASSE ABANTU ABALALA BASATU

Abatemu nga bakozesa ebijambiya baasoose kutemaatema Maria Nabukeera ku kyalo Katuntu mu ggombolola ye Kabira ng’ono yabadde afulumye okunaaba.

Oluvanyuma omulambo baaguwaludde mmita nga bbiri okuva mu nnyumba ye ne bagusuula awo.

Mutabani we, Joseph Zaake yategeezezza nti yabadde akomyewo okuva mu buduuka bwe Kifuuta w’avugira bodaboda ne yeekanga omuntu eyasaze okuva ku nnyumba yaabwe n’adda ku ludda olulala kyokka n’atafaayo.

Agamba nti waayise akaseera nnyina n’afuluma n’agenda mu kinaabiro era tebazzeemu kumulaba.

Baamusanze bamusaze obulago ng’asigaddeko kiyiriitira era baabadde bamutwala mu ddwaaliro, n’akutuka.

Ettemu eddala lyabadde ku kyalo Kidda -Mabbaale mu muluka gwe Kyanika era mu ggombolola y’e Kabira abatemu bwe basse abatuuze babiri aboomukwano era aboomuliraano!

Bulaimu Kakooza 60, ne munne Robert Nyabenda 54, abatemu kiteeberezebwa nti baabazingizza mu maka ga Bulaimu Kakooza, nga bwe baamaze okutta Kakooza ate ne bagoba Nyabenda naye ne bamuttira ku nnimiro eriraanyeewo!

Bonna baabatemezza mbazzi n’ejjambiya era bwe baamaze okubatta, ebissi baabirese mu kayungu ka Kakooza!

Okutta Kakooza mukyala we Nowerina Nakaweesi yabadde awulira kuba baamutemedde mu mulyango gwe ng’amuyita okumuggulira kyokka n’agaana!

Ettemu lino lyasitudde abeebyokwerinda okuli omuduumizi wa Poliisi mu Greater Masaka omuggya, ACP Enock Abaine, omumyuka we era omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Lameck Kigozi, akulira bambega ba poliisi mu Greater Masaka, Ronald Boogere, RDC w’e Kyotera Rtd. Maj. David Matovu ne beegatta ku poliisi y’e Kyotera eduumirwa DPC Grace Mutoni ne basimba amakanda mu ggombolola y’e Kabira eggulo, okunoonyereza kiki ekigenda mu maaso ku beebijambiya abasitudde obuto!

ABEEBIJAMBIYA bongedde okuteeka abantu mu bitundu by’e Masaka ku bunkenke, bwe balumbye Kyotera ne batta abantu abalala basatu. Ku mulundi guno baalumbye ebyalo bibiri mu ggombolola y’e Kabira mu disitulikiti ey’e Kyotera. Wiiki ewedde ng’abantu beetegekera okuyingira omwaka omuggya, abeebijambiya baalumbye ekitundu ky’e Masaka ne batta Jalia Nakajigo ku kyalo Kakoma e Kaliisizo ne batema n’abantu abalala basatu e Masaka. ENGERI GYE BASSE ABANTU ABALALA BASATU Abatemu nga bakozesa ebijambiya baasoose kutemaatema Maria Nabukeera ku kyalo Katuntu mu ggombolola ye Kabira ng’ono yabadde afulumye okunaaba. Oluvanyuma omulambo baaguwaludde mmita nga bbiri okuva mu nnyumba ye ne bagusuula awo. Mutabani we, Joseph Zaake yategeezezza nti yabadde akomyewo okuva mu buduuka bwe Kifuuta w’avugira bodaboda ne yeekanga omuntu eyasaze okuva ku nnyumba yaabwe n’adda ku ludda olulala kyokka n’atafaayo. Agamba nti waayise akaseera nnyina n’afuluma n’agenda mu kinaabiro era tebazzeemu kumulaba. Baamusanze bamusaze obulago ng’asigaddeko kiyiriitira era baabadde bamutwala mu ddwaaliro, n’akutuka. Ettemu eddala lyabadde ku kyalo Kidda -Mabbaale mu muluka gwe Kyanika era mu ggombolola y’e Kabira abatemu bwe basse abatuuze babiri aboomukwano era aboomuliraano! Bulaimu Kakooza 60, ne munne Robert Nyabenda 54, abatemu kiteeberezebwa nti baabazingizza mu maka ga Bulaimu Kakooza, nga bwe baamaze okutta Kakooza ate ne bagoba Nyabenda naye ne bamuttira ku nnimiro eriraanyeewo! Bonna baabatemezza mbazzi n’ejjambiya era bwe baamaze okubatta, ebissi baabirese mu kayungu ka Kakooza! Okutta Kakooza mukyala we Nowerina Nakaweesi yabadde awulira kuba baamutemedde mu mulyango gwe ng’amuyita okumuggulira kyokka n’agaana! Ettemu lino lyasitudde abeebyokwerinda okuli omuduumizi wa Poliisi mu Greater Masaka omuggya, ACP Enock Abaine, omumyuka we era omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Lameck Kigozi, akulira bambega ba poliisi mu Greater Masaka, Ronald Boogere, RDC w’e Kyotera Rtd. Maj. David Matovu ne beegatta ku poliisi y’e Kyotera eduumirwa DPC Grace Mutoni ne basimba amakanda mu ggombolola y’e Kabira eggulo, okunoonyereza kiki ekigenda mu maaso ku beebijambiya abasitudde obuto!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...