TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi etabukidde kansala okugirimbi ku bya muwala we okuwambibwa

Poliisi etabukidde kansala okugirimbi ku bya muwala we okuwambibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2019

POLIISI e Masaka eragidde kansala Kabugo Mugendawala akwatibwe aggalirwe ku bigambibwa nti yagiwudiisa ng’omwana we bwe yali awambiddwa.

Media 703x422

Mugendawala ne muwala we

Kiddiridde poliisi okunoonyereza n’ezuula ng’omwana Zahara Nakabugo 16, bw’atawambibwangako.

Omwogezi wa poliisi mu Masaka, Lameck Kigozi yategeezezza nti Mugendawala yalina ekkobaane mu kubuzibwawo kwa Nakabugo n’ekigendererwa ky’okufuna ssente mu bantu ng’agamba nti abaawamba omwana we baamukubira essimu nga bamusaba obukadde 5.

Kigozi yagasseeko nti poliisi yakola kyonna ekisoboka okuzuula abantu abaakubira Mugendawala amasimu nga bamusaba ssente bamuddize muwala we wabula baakizuula nga tewali ssimu yonna yali emukubiddwa ku nsonga yeekuusa ku mwana.

Nakabugo yabula okuva ku ssomero lya Kirimya Vocation Secondary School nga November 23, 2018.

Oluvannyuma, kitaawe yaddukira ku poliisi e Masaka n’ategeeza ng’omwana we bwe yali abuziddwaawo ng’abamulina bamusaba obukadde 5 okumumuddiza nga mulamu.

Kigambibwa nti omwana ono bwe yava ku ssomero, yagenda Mukono ewa mukwano gwe ng’eno gye yavudde n’agenda ewa kkojjaawe e Nkuke mu disitulikiti y’e Lwengo wiiki ewedde.

Kyokka poliisi egamba nti omwana ono yakukunuddwa mu bitundu by’e Kireka gy’aludde nga yeekukumye.

Sitatimenti za Mugendawala ne muwala we Nakabugo okukontana kyavuddeko akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Greater Masaka Ronald Bogere okulagira poliisi e Masaka ekwate Kabugo aggalirwe.

Nakabugo yategeezezza nti yali yagenda kukyalira mukwano gwe mu bitundu by’e Mukono era oluvannyuma lw’okulaba amawulire nga gamwogerako nga bwe yali abuziddwaawo kwe kusalawo n’agenda ewa kkojjawe e Kireka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...