TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukola eddagala ly’engatto okuva mu butto w’ensogasoga

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukola eddagala ly’engatto okuva mu butto w’ensogasoga

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2019

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukola eddagala ly’engatto okuva mu butto w’ensogasoga

Lab2 703x422

Nyanzi (wakati) ng’alaga bw’okola eddagala ly’engatto mu nsogasoga.

NTWALA omukisa guno okwongera okukwebaza olw’okugoberera emboozi zange ekiseera kyonna, ekitegeeza nti ssinga onookola bw’otyo ojja kwongera okugaggawala n’okukyusa obulamu mu 2019.

Wiiki ewedde nakulaze bizinensi ez’enjawulo z’ogenda okukolamu ssente. Nzize nkusomesa okukola amamera ne bizinensi endala, naye leero ka nkubuulire ku bizinensi y’okukola eddagala ly’engatto.

Jjukira eddagala lino lye njogerako lya butonde, noolwekyo abalina abaana abato awaka ne bw’aba aliridde mu butanwa tewabaawo mutawaaana. Eddagala ly’engatto lirina akatale kagazi naddala eryo eriddugavu kubanga amasomero ne ofiisi ezisinga lye zikkiriza.

Kino kiraga nti osobola okuliguza abayizi n’abakola mu ofiisi ezitali zimu. Emitendera gy’oyitamu ng’okola eddagala ly’engatto Eddagala lino likolebwa okuva mu butto w’ensigo z’ensogasoga ate nga nazo twazoogerako wano.

1 Ddira kkiro y’ebizigo nga bino bye twesiiga.

2 Tabulamu ebijiiko ebiwuuta enva ebya butto w’ensogasogaEbijiiko by’amafuta g’ettaala 10 gettaala.

4 Teekamu ensaano y’olusennyente lw’amanda. Bino byonna bitabule wamu bijja kukola eddagala ly’engatto. Ebizigo by’ossaamu biyamba ebirungo bino okwetabula obulungi.

Amafuta gayamba eddagala obutayonooneka, butto w’ensogasoga ayambaengatto okumasamasa ate n’obutakosebwa mazzi.

Ate olusennyente lukola langi enzirugavu. Ate tukuyigiriza n’okulikola mu langi ez’enjawulo.

Osobola okuyiga okukamula butto okuva mu binyeebwa n’entungo ng’ono akozesebwa mu kufumba ate taliimu masavu ga butwa. Okumukamula kyangu, ojja ne tukuguza akuuma akakamula butto ono era kasita oyanikako ku binyeebwa n’entungo ng’okamula butto. Ebinyeebwa n’entungo birabika mu bifo bingi.

eBIKAMUDDWAAMU MMERE KU NKOKO Ate ebikamuddwaamu butto ebisigala osobola okubiriisa ensolo n’enkoko kubanga birimu ekiriisa nga n’abalunda ebyennyanja babikozesa.

BUTTO W’ENSOGA SOGA AKOLA KU BAPULEESA

Butto ono agwa ne ku ludda olw’ebyobulamu kubanga mulungi ku balwadde ba puleesa n’abalumwa omubiri ky’ova olaba nga bamukozesa mu sawuna. Ako konna katale ate nga n’abasiika capati ne cipusi nabo bamukozesa era takosa bakasitoma baabwe.

yiga okukola amajaani g’ekisubi Osobola okutandika okukola amajaani g’ekisubi omwaka guno. Ojja ne tukuyigiriza engeri gy’ofumba ekisubi n’ofunamu akawoowo kaakyo n’oluvannyuma n’ofumba n’amajaani n’ofunamu ekisubi.

Amajaani gano abantu bagaagala era bagayaayaanira ku katale. Amajaani gano galina emigaso egitali gimu ng’okukkakkanya abazimba olubuto olw’omukka, okutta obuwuka obulwaza amannyo n’obutawunya kamwa, okwoza emisuwa, okuyamba abakyala obutalumwa nga bali mu nsonga, okuyamba ku alusa, okukendeeza ku asidi mu mubiri. Ate omubisi guyamba okusikiriza enjuki ku nnimiro amakungula ne geeyongera.

EDDAGALA ERIKAZA OMUDDO Osobola okukola eddagala erikaza omuddo ate nga lya butonde eritagenda kutta biwuka birina mugaso mu ttaka. Tabula Viniga ng’ono bamukola okuva mu naanansi.

l Funa kkiro ya Viniga

l Liita ya butto w’ensogasoga

l Ekitundu kya kkiro y’amasavu g’empuuta.

l Ekitundu kya kkiro y’omunnyo oguva mu nniimu. Bino bitabule obitereke okumala wiiiki oluvannyuma otandike okuggyako miiru 100 ogatte mu liita z’amazzi 20 ofuuyire ennimiro yo.

Omukenkufu asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bike3 220x290

Aba ddigi balwanira bubonero

Abavuzi bajja mu nsiike eno nga bali ku lutalo lw’akulwanira bubonero bubatuusa ku buwanguzi kuba kumpi buli mutendera...

Img3669webuse 220x290

Okwennyamira kwali kunnessizza...

Okusosolebwa n'okuyisibwamu emimwa kwe nayitamu olw'okuzaalibwa n'akawuka ka siriimu byannennyamiza katono nnette...

Ondup 220x290

Mbabazi asuddewo Onduparaka

Oluvannyuma lw'okubanja okumala ebanga, Livingstone Mbabazi asudde Onduparaka.

Ura12 220x290

Ssimu ne Ssimbwa basisinkanye mu...

Sizoni ewedde e Namboole URA yamegga Express ggoolo 1-0 eyateebwa Ronald Kigongo wabula omutendesi Ssimwogerere...

Cancerdrbalagadde2webuse 220x290

Abaana abafuna obulwadde bwa kookolo...

Abaana abalwala kookolo beeyongedde wadde nga ssinga bafunye mangu obujjanjabi bawona