TOP

Omukungu wa Kabaka ali mu kattu

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2019

Omukungu wa Kabaka ali mu kattu

Deb2 703x422

Jolly Lutaaya ate ku ddyo ye Nabbenga eyafudde.

Omukungu wa Kabaka ali mu kattu oluvannyuma lw’omukazi omukadde okufiira mu maka ge e Muyenga. Naume Nabbenga Binsobedde 92, w’afiiridde nga famire ye eri mu kkooti ng’egamba nti omuntu waabwe yawambibwa n’akwekebwa mu maka ga Jolly Lutaaya eyali Minisita w’e Mmengo owa Gavumenti Ezeebitundu.

Mukyala Lutaaya, Sarah Nakibombo ayita omugenzi nnyina. Famire erumiriza nti Nakibombo yakweka omuntu waabwe lwa kwagala kumutwalako ttaka eriri mu Muliira Zooni ewa Bakuli- Mengo. Wano waliwo poloti ttaano ku ttaka ly’eyali Katikkiro wa Buganda Sir. Apollo Kaggwa. Nabbenga Binsobedde yafudde ku Mmande kyokka omulambo ne guggyibwa ewa Lutaaya ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mengo.

Mukyala Lutaaya yasangiddwa ali bweru wa ggwanga. Okufa kwa Nabbenga y’entikko y’obutakkaanya wakati wa mukyala Lutaaya ne famire ya Sir Apollo Kaggwa obuva ku ttaka eriri ewa Bakuli. Famire ekissa ku Lutaaya ne Nakibombo nti baakozesa olukujjukujju ne bakyusa ebyapa bya poloti zonna ttaano ewa Bakuli ebyali mu mannya ga Eriasafu Bijumbuko Kaweesa (eyali bba wa Nabbenga era mutabani wa Apollo Kaggwa) ne babiteeka mu mannya ga Nakibombo.

Famire erumiriza nti ebyapa, Nabbenga yabiwa Lutaaya abimukyusize okuva mu mannya ga bba abizze mu ga Nabbenga. Era Nabbenga yali ku poloti ezo awaddeko Lutaaya emu olw’okukola omulimu ogwo. Aba famire balumiriza nti bwe baakitegeera nti ettaka likyusiddwa baalondoola ensonga ne bakizuula ng’ebyapa byonna bitaano byali bizziddwa mu mannya ga Nakibombo.

Aba famire bwe baamanya ku bintu bino, bagamba nti kyababuukako mu February 24, 2017, Nakibombo bwe yategeeza Nabbenga nti amutwala ku kabaga akamu ewa Dan Sekaggya Dunta ono mwannyina wa Nakibombo.

Kyokka teyamukomyawo waka era baategeera luvannyuma nti yali amututte mu maka ga Lutaaya, bo aba famire kye bayita okuwamba Nabbenga. Baatuukirira Lutaaya ne Nakibombo bakomyewo omukadde. Bwe byalema kwe kuddukira mu kkooti ne bawaaba omusango gw’okuwamba mukadde waabwe.

Omulamuzi Alexandra Nkonge owa Kkooti Enkulu ekola ku nsonga za famire yawa ekiragiro kya May 11, 2018 n’alagira omukadde azzibwe mu maka ge n’ekyapa ky’ettaka awali amaka kitwalibwe mu kkooti. Yagambye ekyapa kyawebwayo mu kkooti kyokka omukadde teyazzibwa waka. Kyokka ebyapa ebirala bitaano byasigala mu mikono gya Lutaaya ne Nakibombo.

OKUKAYANA KWEYONGERA Henry Bijumbuko avunaanyizibwa ku maali y’omugenzi Bijumbuko yagambye nti Lutaaya ne Nakibombo tebaalina buyinza kutwala Nabbenga kubanga aliko abantu be abasobola okumulabirira. Ekirala bba yamuleka mu bugagga obuli ku poloti zonna ettaano okuli ebizimbe ebivaamu ssente. Poloti kuliko amaduuka, ennyumba z’abapangisa, ekibanda ky’emmotoka, ettendekro ly’ebyamawulire n’ebirala.

N’agamba nti kati ensimbi zonna eziva mu bintu ebyo zitwalibwa Nakibombo, ng’agamba nti ye nnannyini ttaka era alabirira omukadde. Lutaaya teyafunise kwogera ku nsonga eyo ate Nakibombi ali bweru.

BAKAYANIDDE OMULAMBO Nabbenga bwe yafudde omulambo gwatwaliddwa e Mengo okulongosebwa, oluvannyuma gwakwasiddwa kkampuni ya A-Plus. Aba famire baabadde baagala kugutwala ewa Bakuli we guba gusula ate enkya bagutwale e Ssebaggala -Ssemuto gy’anaaziikibwa ku Lwokutaano.

Kyokka aba Nakibombo baabadde bamaze okuwa ekiragiro, omulambo gusuzibwe mu maka ga A-Plus, we gunaggyibwa gutwalibwe butereevu e Semuto. Kino aba famire baakiwakanyizza ne bakuh− haanira ewa Bakuli gye baakumye olumbe we baayogeredde ebisongovu. Aba Nakibombo baatuukiridde poliisi eyagenze awaka okukakkanya embeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...