TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti etandikidde ku kuteesa ku bulwadde bwa kkolera obuli mu Kampala

Palamenti etandikidde ku kuteesa ku bulwadde bwa kkolera obuli mu Kampala

By Kizito Musoke

Added 10th January 2019

Palamenti etandikidde ku kuteesa ku bulwadde bwa kkolera obuli mu Kampala

Hab2 703x422

PALAMENTI yazzeemu okutuula eggulo oluvannyuma lw’eggandaalo lya Ssekukkulu ng’ababaka baatuukidde mu kuteesa ku bulwadde bwa kkolera obuzinze Kampala.

Dr. Joyce Moriku Kaducu minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’obujjanjabi ebisookerwako yasinzidde mu Palamenti eggulo n’ategeeza nti obulwadde bwa kkolera bwabadde buzuuliddwa mu muluka gw’e Kabowa mu Munisipaali y’e Lubaga ne Bukasa mu Munisipaali ye Makindye.

Yategeezezza nti Gavumenti yataddewo ekifo ekyenjawulo mu ddwaaliro lye Naggulu awagenda okujjanjabirwa abantu bonna abateeberezebwa okubeera ne kkolera n’abaana bazuuliddwa nga bamulina.

Kigenda kutwala essaawa eziri wakati wa 24 okutuuka ku 48 okufulumya ebinaaba bivudde mu kukebera ateeberezebwa okuba ne kkolera. Wateereddwawo emmotoka ya ambyulensi egenda okutambuza abalwadde abateeberezebwa okuba ne kkolera okusobola okubatuusa mu ddwaaliro e Naggulu. Ambyulensi eno ekola essaawa 24 ng’abagivunaanyizibwako kuliko; Willy Musisi ali ku nnamba 0794661082 ne Molly Tusiime ali ku nnamba 0794661134.

Okunoonyereza kulaga nti obulwadde buno buva ku bantu abamansa kazambi. Amayumba agalina kaabuyonjo nga n’agamu gaazimbibwa ku myala. Eddagala erijjanjaba kkolera lyongeddwako obungi e Naggulu ne Kiruddu.

Disitulikiti zonna eziriraanyeewo zirabuddwa okubeera obulindaala kubanga kyangu obulwadde buno okubalumba. Moriku yawadde abantu amagezi okukozesa amazzi amayonjo, okukozesa kaabuyonjo bulijjo, okunaaba mu ngalo ne ssabbuuni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu