TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde akulira essomero lya Namiryango Girls afudde

Abadde akulira essomero lya Namiryango Girls afudde

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2019

Abadde akulira essomero lya Namiryango Girls afudde

Jip2 703x422

Sr. Tibarindeka bw’abadde afaanana.

REV. Sir. Hilda Tibarindeka abadde akulira essomero lya St. Theresa Namiryango Girls Primary School afudde nga yaakalongoosebwa eddookooli. Sr. Tibarindeka yafudde ku Lwokubiri ekiro, oluvannyuma lw’okulongoosebwa eddookooli. Yafi - iridde Nsambya gye yabadde aweereddwa ekitanda.

Ensonda zaategeezezza nti bwe yabadde tannatwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya gye yafi - iridde, waliwo akalwaliro mu Kampala gye yasookedde era ng’eno gye baamulongooserezza wabula ne bitagenda bulungi era n’atatereera.

Embeera bwe yatabuse baamuddusizza mu ddwaaliro e Nsambya embeera gye yatabukidde n’azirika era ng’abadde amaze mu kkoma ennaku ttaano okutuusa lwe yafudde ekiro ekyakeesezza ku Lwokusatu (eggulo).

Sir.Tebarindeka abadde alina sukaali ne puleesa era nga kirowoozebwa nti bino bye byavuddeko obuzibu nga bwe yalongooseddwa embeera yagaanyi okudda mu nteeko okutuusa lwe yafudde.

Diosian Tibaleka omu ku booluganda lwe era ng’akolera ku ssomero ly’e Namiryango gy’abadde asomesa yagambye nti azaalibwa Nyamiyanga mu disitulikiti ye Rubanda. Yakolerako ku ssomero lya St. Patricia Girls Iganga, Namunyama Girls Primary School, St. Joseph Nsambya ne Namiryango gy’abadde yaakamala emyaka munaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...