TOP

Aba P7 baasinze kukola SST

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2019

Aba P7 baasinze kukola SST

Kab2 703x422

Minisita Muyingo

ABAYIZI abaatudde ebigezo bya PLE ebigenda okufulumizibwa ku Lwokuna lwa wiiki ejja baasinze kukola bulungi essomo erya SST. Ensonda baagolodde ebya PLE zaategeezezza nti abayizi baasinze kuyita SST ne baddako Ssaayansi wabula Olungereza n’Okubala ne bitawaanyaamu abamu.

Ne mu PLE owa 2017 eyafulumizibwa nga January 12, 2018, abayizi baasinga kuyita amasomo ga SST ne Ssaayansi ng’abayizi ebitundu 94.6 baayita SST ate abayizi ebitundu 88.3 ne bayita Ssaayansi ate ne batakola bulungi Okubala n’Olungereza ng’abaayita Olungereza bali ebitundu 85.6 ate abaayita Okubala bali ebitundu 83.8 ku 100.

Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu Dr. JC Muyingo yakakasizza nti ebigezo bifuluma wiiki ejja ku Lwokuna nga January 17. Muyingo we yayogeredde bino nga UNEB etadde ekirango mu mawulire okulabula abaamasomero ku bafere abeefuula abakungu ba UNEB ne babakubira essimu nga babategeeza nti ebigezo byabwe babikutte nga babayita balabe bwe bamaliriza ensonga.

Ekirango ekyabadde omukono gwa Dan Odong akulira UNEB, kyategeezezza nti, omuntu yenna afuna essimu ey’engeri eno asaana yeekubire enduulu ku poliisi eri okumpi. Yannyonnyodde nti bwe wabeerawo embeera y’okutegeeza essomero ebikwata ku bigezo by’abayizi baalyo, UNEB ewandiika bbaluwa oba okukozesa ennamba z’essimu entongole ezimanyiddwa.

Abayizi abaatudde ebigezo bya P7 omwaka oguwedde 2018 bali 671,923 kuliko abawala 346,963 n’abalenzi 324,960. Omwaka guno minisitule y’ebyenjigiriza w’efulumirizza ebigezo nga yamaze dda okulangirira ennaku okuli olwa January 24 ne 25 kwe bagenda okusunsulira abayingira S1

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600