TOP

Obuwumbi 13 zaafiira ku malwaliro 3

By Musasi wa Bukedde

Added 10th January 2019

Obuwumbi 13 zaafiira ku malwaliro 3

Dab1 703x422

OMUBAZI omukulu ow’ebitabo bya Gavumenti afulumizza lipoota ku mivuyo gy’ensimbi egyetobeka mu kuddaabiriza eddwaaliro ekkulu ery’e Mulago n’okuzimba amalwaliro ery’e Kiruddu n’e Kawempe ng’eraga nti obuwumbi 13 zaafa ttogge olw’ensobi ezaakolebwa aba Minisitule y’Ebyobulamu mu kugaba kontulakiti ez’okugazimba.

Mu lipoota ye, John Muwanga yategeezezza nti ekisinga okweraliikiriza nti ssinga wabeerawo obuzibu, Gavumenti erina kuddamu kutumya bakugu okuva ebweru w’eggwanga kubanga abakugu abaakola omulimu ogwo, tebaatendeka Bannayuganda ku ngeri y’okugaddaabiriza.

Lipooti ya Muwanga ey’omwaka gw’ensimbi oguwedde 2018/19 yalaze nti Gavumenti yeewola ssente obukadde bwa ddoola za Amerika 15 okuva mu African Development Fund ne Nigerian Trust Fund mu nkola eyatuumibwa Improvement of Health Services at Mulago Hospital and the City of Kampala Project (MKCCAP).

Enkola eno yagendererwamu okutumbula ebyobulamu by’abantu ababeera mu kibuga Kampala nga babazimbira n’okutumbula omutindo gw’eddwaaliro ly’e Mulago gattako ery’e Kawempe ne Kiruddu g’etwala. Ssente zino zaali za kuzimba n’okuddaabiriza emyala, entambula y’amasannyalaze n’amazzi mu ddwaaliro ly’e Mulago kuba kyali kizuuliddwa nti byali mu mbeera mbi. Okusooka emirimu gy’asooka kutambula bulungi nga bagoberera abakugu bye baali bakkaanyizzaako ku buli mutendera.

Kyokka abaali ku gw’okuzimba bwe baddamu okwetegereza, baakizuula nti ssente ze baali babaliridde zaali tezijja kumala era ne basalawo okuleka ebintu ebimu ebyali bibaliriddwa ku ntandikwa. Ebimu ku bintu ebikulu ebyali birowoozeddwaako byalekebwa ebbali okuli; ekifo mwe bajjanjabira abayi, we basimbuliriza ebitundu by’omubiri eby’omunda, we bakeberera endwadde, ekifo we bookera kasasiro n’okutereeza enkula y’ekifo byonna byalekebwa ebbali.

Kyokka omulimu gw’okuzimba bwe gwatandika ate ne baddamu, kyazuulwa nti ebintu ebyali birekeddwa ebbali byali bikulu ebitayinza kulekebwa. Minisitule y’ebyobulamu yasalawo okwewola ssente endala ekyavaako bbeeyi y’okuzimba okulinnya. Omulimu gw’okuzimba gwonna gwali gwakumala emyaka ebiri, wabula gwayitamu emyezi 16. Ezimu ku nsonga ezaavako akasoobo mwalimu okulwawo okusengula abalwadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600