TOP

Gavumenti aweze ab’e Kabowa okukwata mu ngalo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2019

Gavumenti aweze ab’e Kabowa okukwata mu ngalo

Kop4 703x422

MINISITA omubeezi ow’ebyobulamu Dr. Joyce Moriku Kaducu n’omubeezi owa Kampala Benny Namugwanya bawuniikiridde bwe babadde balambula ebyalo ebyalumbiddwa kkolera e Kabowa mu Munisipaali y’e Lubaga bwe basanze ng’amaka agasinga tegalina kaabuyonjo.

Nga bali n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyobulamu n’aba KCCA baalambudde Ssembule ne Kironde Zooni omuli obulwadde bwa kkolera ne balagira abantu baayo obutaddamu kukwata muntu yenna mu ngalo.

Ekirala ekyabeewuunyisizza kwe kuzuula nga waliwo ebifo bisatu byokka abantu we baggya amazzi amayonjo ng’ebibiri bimaze ebbanga nga tebikola ate ekyasigalawo amazzi gaakusasulira. Minisita Namugwanya yasabye abatuuze okukolera awamu n’abakulembeze n’okufaayo okweyonja okusobola okwetangira kkolera. Yabasabye okukomya okweyambira mu mwala n’okumansa kasasiro kubanga kye kivaako obucaafu okweyongera.

Dr. Joyce Moriku Kaducu yasabye abakulembeze okubeera ekyokulabirako eri abalala nga banaaba mu ngalo nga tebannaba kulya n’okufaayo ku bulamu bwabwe. Minisita yabasuubizza nga Gavumenti bw’egenda okubazimbira kaabuyonjo ez’olukale n’okussaawo olunaku olwokukolerako bulungibwansi mu ggwanga lyonna buli mwezi kiyambe mu kulwanyisa obucaafu.

Eddy Tagoya ssentebe wa Kironde Zooni yategeezezza nti ekizibu ekisinga okubatawanya gwe mwala gw’e Nalukolongo ogulimu omugotteko wamu n’ebbula ly’amazzi amayonjo. Kansala Ismail Ddamba asabye Gavumenti okussa mu nkola etteeka ly’akaveera kubanga abantu bwe bassaamu kazambi n’ebisasiro bye basuula mu mwala ne guzibikira.

Abatuuze baasabye minisita okubassizaawo ekifo awajjanjabirwa abalwadde ba kkolera mu ddwaaliro ly’e Kiruddu kubanga eddwaaliro ly’e Naggulu gye baabagambye okugenda libali wala. Baasabye n’okubafunira ebifo mwe basobola okuggya amazzi amayonjo kubanga bangi balemererwa okugafuna olw’ebbula ly’ensimbi.

Beebazizza Minisita okubasuubiza okubazimbira kaabuyonjo ne bagamba nti kino kye kimu ku bizibu bye balina mu kitundu kyabwe nga singa kibeera kikoleddwaako embeera y’ebyobulamu ejja kulongoo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu