TOP

Owa bodaboda attiddwa mu bukambwe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2019

Owa bodaboda attiddwa mu bukambwe

Lop2 703x422

Bobi Wine (ataddeko enkoofiira), John Mary Ssebuufu (ku ddyo), Michael Mabikke (ku kkono) ne Kasiano Wadri ku kkooti eggulo.

ABATUUZE mu muluka gwa Makerere baguddemu ekyekango bwe basanze omulambo gw’owa bodaboda ng’atemuddwa mu bukambwe. Poliisi yategeezezza nti owa bodaboda yandiba nga yatemuddwa abantu abazze bamulondola abaamukubye ennyondo ku mutwe ne bamunyagako pikipiki ye.

Omulambo gwasuuliddwa mu nnimiro nga teguliiko bigwogerako nga ku mabbali waasangiddwawo ennyondo eyabaddeko omusaayi.

Lawrence Musoke alabirira ennimiro abazigu mwe baasudde omulambo, nga ye yasoose okugulaba yagambye nti y’abadde akedde okukola mirimu gye nga bulijjo kyokka amaaso gaatuukidde ku mulambo gw’omusajja ateeberezebwa okuba omuvuzi wa bodaboda ng’ali wakati w’emyaka 27.

Musoke yadduse mangu n’ategeezzaako batuuze banne omwabadde n’abakulembeze b’ekitundu nabo abaayise poliisi y’e Wandegeya eyakulembeddwaamu OC Abwang Samuel. Abaserikale bazze ne beekebejja ekifo we battidde omugenzi n’oluvannyuma ne batwala omulambo mu ggwanika e Mulago.

Oluvannyuma abatuuze n’aba bodaboda mu kitundu kino bakkiriziddwa okulaba ku mulambo okusobola okuzuula famire y’omugenzi era waliwo omuvuzi wa bodaboda eyagambye nti omugenzi abadde akolera ku siteegi ya Kyebando mu Nsooba.

Poliisi bwe yakebedde omulambo gwabadde guvaamu omusaayi mungi nga guliko ekiwundu ekinene mu liiso nga kirabika nti ennyondo gye bakozesezza okumutta.

Omugenzi bwe baakebedde mu nsawo nga talina kiwandiiko kyonna kimwogerako wadde ssente nga kiteeberezebwa nti ne pikipiki gye y’abadde avuga baagitutte. Paul Mafumba owa LC yagambye nti ekitundu kyabwe balina poliisi ekirawuna okusobola okulwanyisa ebikolwa nga bino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo