TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Stella Nyanzi ayagala kkooti emukkirize alabe abasawo be

Stella Nyanzi ayagala kkooti emukkirize alabe abasawo be

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2019

Stella Nyanzi ayagala kkooti emukkirize alabe abasawo be

Deb1 703x422

Stella Nnyanzi

DR. STELLA Nyanzi ayongedde okulaga kkooti obulumi bw’ayitamu bukya avaamu olubuto n’agamba nti awulira nnabaana be eyagala kuvaamu era asiiba avaamu omusaayi.

Bwe yabadde ew’omulamuzi Gladys Kamasanyu mu musango gw’okunyiiza pulezident Museveni, yamutegeezezza nti okuva lwe yavaamu olubuto awulira obulumi n’asaba bamukkirize alabe abasawo be. “Ng’omukyala avuddemu olubuto nnina okufuna obujjanjabi obw’enjawulo bwe sisuubira nti nsobola okubufunira mu kkomera,” bwe yategeezezza kkooti ya Buganda Road ku Lwokuna ku makya.

Omulamuzi yamugambye ateekemu okusaba kwe mu buwandiike era kujja kuwulirwa olunaku olulala. Looya we Isaac Ssemakadde yalaze obutali bumativu olw’ensalawo y’omulamuzi ng’ate naye mukazi. Nyanzi akomawo mu kkooti nga January 17, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo