TOP
  • Home
  • Amawulire
  • King Saha abayise leero e Lugogo abakube emiziki

King Saha abayise leero e Lugogo abakube emiziki

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2019

King Saha abayise leero e Lugogo abakube emiziki

Hop2 703x422

SINGA tubadde baakutegeka mpaka za kuyimba, King Saha yandivuganyizza bulungi ku ngule y’omuyimbi asinze okuyimba mu 2018 sinnakindi okugiwangula. Omwaka oguwedde, Saha ng’amannya ge amatuufu ye Manisoor Ssemanda yeeriisizza nkuuli mu nsike y’okuyimba. Akoleddemu ennyimba nnya okuli; Biri Biri, On my way, Very well, Mpa Love zonna ezikutteyo ekimufudde omuyimbi ow’enjawulo ku balala.

Eno y’ensonga lwaki King Saha ategese ekivvulu ky’atuumye ‘Biri Biri Concert’ ekigenda okubeera ku Kyadondo Rugby Grounds e Lugogo akawungeezi ka leero ku Lwokutaano okujaguza n’okusanyukira awamu n’abawagizi be olw’obuwanguzi bw’atuuseeko. Okuyingira 20,000/-, 50,000/- ne 1,000,000/- emmeeza. Ekivvulu kino kitegekeddwa aba Humble Management ne kiwagirwa Vision Group efulumya ne Bukedde.

OBUWANGUZI Okuva lwe yava ewa Jose Chameleone mu Leone Island mu 2014, King Saha azze akula mu kuyimba era kati y’omu ku bayimbi abamannya mu ggwanga.

Obumu ku buwanguzi bw’atuuseeko omwaka oguwedde kwe kumulonda okwetaba mu mpaka z’okuyimba eza Coke Studio e Kenya era Saha agamba nti obukugu n’obumanyirivu bye yafuniddeyo wamu n’emikwano gy’abayimbi okuva mu mawanga ga Afi rika bigenda kumuyamba okwongera okukola n’amaanyi.

BY’AFUNYEMU Bw’oyogera ku bayimbi abafu- Byanye mu nsiike y’okuyimba, King Saha toyinza kumubuusa maaso. Saha eyali omwetissi w’emigugu mu Kikuubo kati yeeyisa kiroodi, azimba maka ag’ebbeeyi e Kagga- Nakawuka okumpi ne gye baaziika Moze Radio. Eno alinayo ettaka ddene okuli ne ffaamu ate n’emmotoka azikyusa nga bikooyi obulamu omuvubuka yenna bwe yandiyagadde okubeeramu.

EBIMUSOOMOOZA Saha agamba nti ng’omuntu omualala yenna naye asanze bingi ebimusoomooza mu lugendo lwe olw’okuyimba kyokka yeebaza Allah amusobozesezza okubivvuunuka n’okubiyitamu n’okulaba nti bino tebimuggya ku mulamwa.

Yagasseeko nti ebimu ku bino be bantu abatasiima ky’akola n’abo abakola kyonna ekisoboka okumunafuya. “Kati ddala nneewuunya omusajja Bebe Cool eyakoze ‘lisiti’ y’abayimbi abasinze okuyimba mu 2018 n’anteeka mu kifo kya 20 ate nga nze muyimbi nzekka abadde n’ennyimba nnya nga zonna hiiti,” Saha bwe yeemulugunyizza.

OMUKYALA MUMULABA KU MBAGA Saha y’omu ku bayimbi abasinga okuyimba ennyimba z’omukwano n’okuwaana laavu y’abakyala kyokka bangi ku bawagizi be bazze bamusaba abalage ku mukyala we amubiita anti tebamulaba bw’atambulako naye ng’abayimbi abalala.

AKOOWODDE ABANTU OKUMUWAGIRA Bwe yabuuziddwa eky’enjawulo ekisuubirwa mu kivvulu kye, Saha eyabadde ayogeza essanyu yasoose kukoowola bantu okujja mu bungi. “Nze muyimbi agenda okusinga okwambala nga buli kyambalo kirina kye kitegeezezza. Engeri gye ng’enda okujja ku siteegi ya njawulo ate etiisa naye saagala mutye; ng’enda kujja nga malayika.

EBYOKWERINDA BINYWEZEDDWA Bashir Ssempala amyuka omuduumizi wa poliisi mu buvanjuba bwa Kampala yalabudde abakozi b’effujjo n’abo abasuubira okwenyigira mu bikolwa by’obumenyi bw’amateeka ebirala ku kivvulu kya Saha nti baakukwatibwa baggalirwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera