TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkamera za Bbanka Enkulu zaanise abanene abalala

Kkamera za Bbanka Enkulu zaanise abanene abalala

By Kizito Musoke

Added 12th January 2019

KKAMERA ezaaleeteddwa mu Palamenti okulaga engeri omukungu wa Bbanka Enkulu, Justine Bagyenda gye yeetikka ebiwandiiko bya Gavumenti zaanikiddemu abanene abalala omuli ne looya w’omu Kampala gwe zaalaze nga naye akukusa ebiwandiiko bya Bbanka Enkulu.

Light 703x422

a gyenda mu kakiiko

Ababaka ba Palamenti abaakakiiko aka COSASE akakulirwa, Abdul Katundu baawuniikiridde nga kkamera ziraga engeri Bagyenda gye yakukusa ebiwandiiko bya bbanka ku lunaku olwa Ssande olutali lwa kukola mu Gavumenti.

Akatambi kaalaze omukuumi wa Bagyenda, Juliet Adikot ne ddereeva we Job Turyahabwe nga bafulumya ebisawo omuli ebiwandiiko n’ebintu bya bbanka enkulu bingi nga tebaaziddwa ng’amateeka bwe galagira.

Ng’oggyeeko okuba nti ensawo tezaayazibwa kyokka era byafulumira mu mulyango ogutali gwa bulijjo. Byaliwo ku Ssande nga March 11, 2018.

Waliwo n’akatambi akalala akaakwatibwa nga March 4, 2018 ng’emmotoka ya Bagyenda mwe yali ne Adikot ne Turyahabwe ng’eyingira Bbanka Enkulu.

Waliwo n’akatambi akaakwatibwa nga February 4, 2018 nga waliwo emmotoka bbiri ezaayingira mu Bbanka Enkulu mu biseera eby’enjawulo ne muvaamu abasajja babiri okuli n’omuyindi ne beesogga Bbanka Enkulu.

Ekimu ku kyewuunyisizza ababaka kwe kubeera ng’ emmotoka zino mu kuyingira zaasanga Adikot azirindiridde ku mulyango era abaazirimu ye yabakulemberamu okubatuusa ku Bagyenda.

Mu kwewozaako Bagyenda yategeezezza nti emmotoka emu yalimu munnamateeka Timothy Masembe Kanyerezi owa kkampuni ya MMAKS emu ku ziwolereza Bbanka Enkulu.

Emmotoka eyokubiri yalimu Ashwini Kumar eyali akulira bbanka ya Baroda nga bonna baali balina ebibaleese eby’enjawulo.

Yagambye nti ekyamusisinkanya abakulu bombi ku lunaku lwa Ssande olutaali lwa kukola lwa nsonga nti mu kiseera ekyo yali mu luwummula era obwo bwe budde bwe yafuna.

Masembe alabibwa ng’ayingira ofiisi ya Bagyenda ng’akutte ensawo ewewuka, kyokka mu kufuluma erabika ng’ezitowa okusinga bwe yayingidde era kiteeberezebwa nti yatwaliramu ebintu.

Bagyenda yasanze akaseera akazibu akulira ebyokwerinda mu Bbanka Enkulu, Milton Opio bwe yamulumirizza nti yali akimanyi bulungi nti takkirizibwa kusisinkana bagenyi mu budde obutali bwa kukola.

Opio yalumirizza nti okumanya Bagyenda n’omukuumi we baalina omupango gw’okufulumya ebiwandiiko by’ekitongole, Adikot yasooka kulabibwa ng’alabiriza okukakasa nti tewali mukuumi anaamwaza era ng’aliko n’omuntu gwe yayogeranga naye ku ssimu.

Ku kye bisawo ebisatu ebyafulumizibwa nga March 11, yagambye nti byalimu bifaananyi bye awamu n’ebiwandiiko bye ng’omuntu.

Eky’obutayazibwa teyabimanya kuba we baabifulumiza yali asigadde mu ofiisi. Bagyenda yagambye nti obutayazibwa tegwali mulimu gwe kuba yeeteekangawo okumwaza, kyokka abavunaanyizibwa ne batafaayo.

Adikot obwedda ayogeza obukambwe yagambye nti yasalawo okuggula geeti ng’emmotoka ya munnamateeka Masembe ng’eyingira wadde si buvunaanyizibwa bwe kuba tewaaliwo mukuumi wa kubiri ayambako.

Tumubweine Twinemanzi eyaddira Bagyenda mu bigere yayongedde okukomerera Bagyenda bwe yategeezezza nti wadde amateeka gakkiriza abakungu ba Bbanka

Enkulu okuyingira ekiseera kyonna, kyokka tebakkirizibwa kuyingiza bagenyi mu ssaawa ezitali za kukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...