TOP

Omusajja ayokedde mukazi we mu nnyumba

By Edward Luyimbazi

Added 12th January 2019

OMUSAJJA ateekedde omuliro ennyumba mwe yaleka mukazi we n’abaana ng’ayagala abatte yeddize poloti gye baludde nga bakaayanira.

Nju1 703x422

Ka wala gwe baayokedde mu nnyumba e Mbuya ng’ali mu ddwaaliro e Kiruddu. Mu katono ya Kateregga

Mohammed Kateregga, yaguze petulooli n’alabiriza mukazi we Suzan Kawala abeera mu Mbuya zooni 3 mu munisipaali y’e Nakawa n’abaana nga beebase ku ssaawa 8:00 ogw’ekiro n’amansira amafuta ga petulooli wabweru w’ennyumba n’agikumako omuliro ng’ayagala bafiiremu.

Kawala eyasangiddwa mu ddwaaliro ly’e Kiruddu gye baamuddusizza oluvannyuma lw’okwokebwa omuliro yagambye nti ekiro yabadde yeebase n’awulira omuntu ayiwa ebintu ku nnyumba era yagenze okulaba ng’omuliro gwaaka mu ddiiro nga gwasookedde ku ntebe.

Ayongerako nti yafunye amazzi mu bwangu n’atandika okuguyiwako kyokka ye gw’abadde gwamwokezza dda wabula yasobodde okutaasa abaana be babiri ow’emyaka omusanvu n’ow’ena aliko obulemu.

Yagambye ebintu bya wansi byonna byayidde era abazirakisa bamuyambe.

Emmanuel Tumukunde omu ku bantu abaatasiza Kawala yategeezezza nti baabadde balina ababbbe baguumiise abatigomya ebitundu by’e Mbuya n’emiriraano ne balaba omusajja eyazze adduka ng’abasaba obuyambi nga yebikkiridde ekikooti mu maaso. Bamwekengedde ne bamukwata nga bamuyita omubbi.

Yamwetegereza nga ye Kateregga n’abasaba abawe obukadde bubiri ne kaadi y’emmotoka gye yabadde nayo bamuleke adduke.

Yabade akyabeegayirira ate ne bawulira enduulu gye yabadde ava ng’adduka. Baamukutte ne bamutwala mu kifo awabadde wava enduulu era baagenze okutukayo ng’ayokezza ennyumba ya mukazi we gye yali yanoba.

Baamukutte ne bamutwala ku poliisi ya Jinja Road gy’akuumirwa baagenze okukebera mmotoka gye yabadde ayagala okubawa baasanzeemu akaccupa ka petulooli. Byonna byatwaliddwa ku poliisi ye Jinja Road.

b antu nga bakuhhanidde ku nnyumba ya awala bba mwe yabadde amwokeddeAb antu nga bakuhhanidde ku nnyumba ya Kawala bba mwe yabadde amwokedde.

 

OBUTAKKAANYA BWAVA KU NNYUMBA GYE BAAGULA

Annet Taaka ssentebe wa zooni 3 e Mbuya yategeezezza nti abafumbo bano baludde nga balina obutakkaanya mu maka obwavaako ne Kateregga okusenguka n’afuna ennyumba endala gye yapangisa.

Yayongeddeko nti obutakkaanya bw’abafumbo bano bwava ku bwanannyini bw’ekifo Kawala w’abadde abeera anti nga buli omu agamba nti ye yagulawo.

Taaka yategeezezza nti ekifo kino kyali kitundibwa era ne basasulako, wabula oluvannyuma lw’abafumbo bano okulemererwa okumalayo ssente zino nnannyini nnyumba yasalawo abaddize sente ze baali baakasasulako.

Wabula oluvannyuma omukyala yafuna ssente ne bagenda ewa ssentebe ne bakola endagaano era ng’eraga nti omukyala y’aguze.

Mu mwezi gwa July, 21 2018 Kateregga yamenya ennyumba eno n’atwaala ebintu byonna ebyalimu wamu n’abaana babiri nga Kawala taliwo.

Naye Kawala yaloopa ku poliisi era ne bamuddiza abaana be. Mmeeya we Nakawa, Ronald Balimwezo yayingira mu nsonga z’abafumbo bano era ne bamenya ennyumba eno Kawala ne bamuzaamu ku mpaka n’oluvannyuma Kateregga yakwatibwa ne bamusibira ku poliisi y’e Mbuya gye yava nga bamaze okukwatagana ne bba.

Kawala yasisinkana Balimwezo n’amubuulira nga bwe yali afunye ekibaluwa ekimulabula okumutuusaako obulabe nga kiriko nti, “Ggwe weebereremu, next time, next time” era n’amugamba aggulewo omusango. Balimwezo avumiridde ekikolwa kino. Omusango gwawabiddwa ku poliisi ya Jinja road ku fayiro 03/09/01/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente