TOP

Bashir alumirizza Amerika ku lukwe mu Sudan

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2019

GAVUMENTI ya Sudan erumiriza Amerika okussa ssente n’okuwa amagezi abamu ku bannamagye ba Pulezidenti Omal al Bashir ab’oku ntikko bamwefuulire bawambe obuyinza.

Bashir759 703x422

Bashir

Okusinziira ku kitongole ekikessi eky’omu Sudan ekya, National Intelligence and Security Service (NISS) olukwe Abamerika baalulukidde ku muliraano e Misiri mw’emu ku wooteeri ez’ebbeeyi ng’omukungu wa Amerika Princeton Lyman y’ali wakati mu lukwe luno.

Enteekateeka yaabwe ezingiramu n’ebyokukuma omuliro mu bantu ba bulijjo beegugunge, olwo Bashir akole ensobi abaakwase eryaanyi bakubwemu amasasi olwo kiwe abajaasi oluwenda okuwamba gavumenti nga bagamba nti tebayinza kukkiriza Bashir kutta bantu ba bulijjo abatalina musango.

Newankubadde nga Bashir alinga eyagudde mu lukwe luno, abeekalakaasa bakyagenda mu maaso n’okweyiwa ku nguudo baagala alekulire.

Engeri gye baabadde baluseemu olukwe, omu ku bakungu ba gavumenti ya Amerika yategese n’agenda e Misiri okusisinkana abakungu b’amagye abatali bamativu ne Bashir by’akola.

Enteekateeka zaatandika September 2012, olwasooka omukungu yalina okusisinkana Salah Gosh Omuwabuzi wa Bashir ku nsonga z’amagye.

Olunaku lwe baabadde bategese okusisinkana, Gosh teyalabiseeko.

Ebikulu bye baabadde balina okwogerako kwe kutegeka olukwe lw’okuwamba n’okuteesa ku nkolagana ya Amerika ne Sudan.

Okwekalakaasa okubadde kukyasinze amaanyi kwabaddewo ku Lwakusatu, Bashir yategese okukuba olukung’aana ku Green Square mu kibuga ekikulu Khartoum n’abamuvuganya ne batandika okwekalakaasa nga baagala okulumbagana abaabadde mu lukung’aana lwa Bashir.

Mu kanyoolagana k’abeekalakaasi ne poliisi ng’eri n’amagye, baakubye amasasi okukkakkana ng’abantu 12 bafudde n’abalala bangi ne balumizibwa nnyo.

Abantu Bashir bazze akwata n’aggalira mu makomera bali 800 nga kuliko ba Polofeesa n’abasomesa mu University of Khartoum.

Bungereza, Amerika, Canada ne Norway wiiki eno baafulumizza ekiwandiiko eky’awamu nga banenya ebigenda mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssenga1 220x290

Omusajja tayagala kwegatta

WALIYO omusajja anjagala naye obuzibu musajja mukulu, wa myaka 60. Naye ekyewuunyisa omusajja ono talina mukazi...

Wano 220x290

Gavt. egenda kusuumusa eddwaaliro...

OMUWANDIISI ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine akakasizza nga gavumenti bw’eri mu kukola...

Katabitc 220x290

Bagudde ku mulambo gw'omusajja...

ABATUUZE b’e Nkumba - Bukolwa mu Town Council y’e Katabi bakeerede mu kyekango oluvannyuma lw'okugwa ku mulambo...

Still 220x290

Tulakita za Gavt. zissiddwaako...

TULAKITI n’ebyuma ebirala ebikola enguudo gavumenti bye yagabidde disitulikiti ssaako n’ebitongole byayo zissiddwaamu...

Ssaalongokalema 220x290

Aba takisi bakubye munnaabwe n'azirika...

ABA takisi e Mpigi bakubye owa siteegi y’e Kibuye gwe balumiriza okufumita mu nnaabwe ekiso n’addusibwa mu ddwaaliro...