TOP

Ofiisa wa poliisi ayanise abatta Maj. Kiggundu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2019

POLIISI ekutte ofiisa waayo Jane Nyinarukundo 32, eyavuddeyo n’attottola nga bw’amanyi abatemu abazze batta Abasiraamu mu ggwanga okwali ne bba wa Maama Fiina Maj. Muhammed Kiggundu nga kati bateekateeka kutta balala okuli ne Maama Fiina.

Funa 703x422

Nyinarukundo ng’annyonnyola Maama Fiina ( ku ddyo).

PC Jane Nyinarukundo ku Lwokuna yagenze ewa Sofia Namutebi (Maama Fiina) e Bulenga ku ssaawa nga 9:00 ez’olweggulo n’amuttottolera nga bw’amanyi abatta bba, Maj. Kiggundu ng’olukwe lw’okumutta baalupangira mu maka ge (Jane Nyinarukundo) e Nabweru nga mu kitoogo.

Kwaliko bba yennyini taata w’abaana be gwalinamu abaana ababiri ayitibwa Zzimula.

“Nnyabo Maama Fiina nzize wano okukubuulira bino kubanga nkulumirwa olw’okubeera nti oyambye nnyo abantu abawera abali mu mbeera embi nga bwe ssikubuulira kiddako ng’ate basemberedde okukutta omwezi guno mbeera nkoze nsobi,” bwatyo Nyinarukundo bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, “ Maama Fiina nze akubuulira bino mbadde wa poliisi lwakuba nnasalawo gye buvuddeko ne ngivaamu naye nga nkoledde mu bifo bingi omuli Nateete, CPS ne mu Busoga era mu Kampala abantu abasinga bammanyi bulungi nga ndi mu kitongole kya FFU”.

Yagambye nti abatemu bano okuli ne bba Zzimula, Musiitwa, n’abalala bazze batta Abasiraamu ab’enjawulo okuli; Shiekh Muwaya, Shiekh Hassan Kirya, ne Maj. Muhammed Kiggundu n’abalala era nga bwe bagamba nti balina okukutta ku lunaku gundi ne bw’okola otya tosula.

Nyinarukundo yagambye nti okusooka yawuliranga enkwe ze baali bapangira mu nnyumba ye okutta abantu nga tafaayo wabula nga November 23, 2016 baateesa okutta Maj. Kiggundu wabula ne kimusukkako. “ Era nga November 24, 2016 nakeera wa Maama Fiina e Bulenga.

Nasaba abaserikale abaali bakuuma Maj. Kiggundu okulaba mukama waabwe oba Maama Fiina ne bahhaana nga bwe baagala nsooke mbabuulire kye njagala okubagamba ne mbivaako ne nzira awaka.

Natuuka awaka ku ssaawa nga 3:00 ez’oku makya bba wange Zimula n’ambuuza gye nva ne mugamba nti mbadde nkedde ku ssomero ly’omwana n’abivaako.” bwe yategeezezza Maama fiina eyabadde amwegese amaaso.

N’agamba nti waayitaawo ennaku bbiri zokka yagenda okuwulira nti Maj. Kiggundu bamutidde e Masanafu nga November 25, 2016 era ye olukwe yali alugoberera bulungi. Ku lunaku lwe baamutta baasula bamukuumye e Bulenga okumpi n’essundiro ly’amafuta erya Afrika.

ENGERI GYE BATTAMU MAJ. KIGGUNDU

Baamulondoola okuva emisana era bajja bamugoberera okuva e Nakaseero era ng’olukwe luno mwalimu n’aba poliisi babiri abaakolagana n’ekibinja kino, era Katereega ye yakolanga omulimu gw’okutambulira ku Maj. Kigunddu.

Ku ssaawa nga 11:30 Maj. Kiggunddu yatokosa mmotoka n’eva mu kikkomera kya Maama Fiina nga Kateregga amulaba n’atemya ku banne okwali ne bba wa Nyinarukundo nga bali ku pikipiki ennene okutaaberanga nnamba ne bamugoberera okumutuusa e Masanafu we baamuttira.

Era naye (Nyinatukundo) yali mu kamotoka akatono akaali kagoberera nga ke kaalimu abalinze okuyamba abapikipiki singa baba babasinzizza amaanyi.

“Bba wange Zimula ye yakuba amasasi omupiira gw’emmotoka ya Maj. Kigunddu n’etagala okuva ku kkubo era Maj. Kiggundu n’avaamu okulaba ekibadde, Musiitwa n’amusindirira amasasi mu mugongo n’agwa wansi, Amangu ago omukuumi wa Maj. Kiggundu, Sgt. Mukasa n’avaayo okutaasa mukama we olwo Zimula naye n’amukuba amasasi agaamusuula wansi ne babasemberera kumpi ne babakuba amasasi ag’okumuukumu ne gabattirawo.

Nga bino biwedde nalaba ng’ebikolwa by’okutta abantu bisusse ne ngenzaako okutuukirira ebitongole byokwerinda ebyenjawulo nga mbabuulira ensonga nga bwe zaali naye nga babitwala ng’ebyomuzannyo.

Era nayongera ne ntuukirira ne Col. Kaka Bagyenda owa ISO era n’ankwata ne bantwala mu kkomera lyabwe e Kyengera gye baankuumira emyezi egiwera omunaana ne bamala ne banta.

Nakola ekisoboka era ne nfuna omuntu eyantwala ne nsisinkana ne Pulezidenti Museveni nga July 1, 2017.

Ne mubuulira buli kimu wabula nankwasa abajaasi be bangulire n’enju mwemba mbeera bankuumiremu n’abaana bange.

Bo bampangisiza enju emyezi esatu gyokka. Wabula mu kiseera kino oluvannyuma lwa baze Zimula okutegeera nti sikyakuumibwa era yansisinkana ennaku ntono nga ntambuza bigere n’ayagala okuntomera ne mbuuka ne ggwa mu nsiko n’ampeereza obubaka ku ssimu yange nti “Ne bw’onoozunga wa ggwe nnyabo, mu buli ofiisi tebasobola kunsiba.

Maama Fiina bw’aggwa, gw’oddako. Tuli banene totusobola, tulina ssente, Musa bw’atakutta nze nja kukutta ekyo kimanye,” bw’atyo Nyinarukundo bwe yategeezezza. Era Nyinarukundo yalaze Maama Fiina obubaka obulala ku ssimu bba Zimula bwe yamuweereza ng’amulabula.

Nyinarukundo yagambye nti yali akola mu kitongole kya poliisi ekya FFU ekitongole kya poliisi era tebasobola kumwegaana.

MAAMA FIINA

Nze okusooka nabadde ndowooza nti omukyala by’ayogera bya kiyaaye wabula ayinza okubeera n’ensonga era nze mpunze kubanga nze sirina mutawaana gwonna ku muntu era n’abatta bba wange sikeerangako ku makya ne mbalondoola kati babeera banzitira ki era yagguddewo omusango ku poliisi y’e Bulenga ku fayiro nnamba SD: 44/10/01/2019 ogw’okumutiisatiisa okumutta.

OMWOGEZI WA POLIISI MU GGWANGA EMILLIANO KAYIMA AYOGEDDE

Kituufu omukyala ono Jane Nyinarukundo tumumanyi yali muserikale waffe. Era kituufu twamukutte akuumirwa ku poliisi y’e Wakiso etwala Bulenga gye yagenze okutegeeza Maama Fiina ebigambo bino.

Naye nga tetunnamuggulako musango gwonna kubanga yazze kuwa mawulire wabula era kituufu azze agenda mu bitongole byokwerinda ebyenjawulo ng’abitegeeza ebigambo bino ne bamuwaayo ku ssente naye simanyi kunoonyereza gye kwaggweera.

Ku luno tugenda kwetegereza ebigambo bino bye yayogedde nga tuli wamu n’abakugu mu kunoonyereza ku misango mu poliisi, ISO, CMI ne SFC tulabe lwaki omukyala ono alemera ku mawulire gano agatali mangu muntu yenna kuvaayo kwogerako, ekizibu kireme kutuukawo ate twejjuse. Yayongeddeko nti era bagenda kuleeta n’abasawo ba poliisi okuva e Butabika bamukebere obwongo bazuule oba mulamu bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo