TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi w'ebirime abuziddwaawo mu ngeri etategeerekeka

Omusuubuzi w'ebirime abuziddwaawo mu ngeri etategeerekeka

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2019

OMUSUUBUZI w’ebirime mu Kampala, Fred Kahwa 42 abuziddwaawo abantu abatannategeerekeka bwe baamuggye ku mulimu gy’akolera mu kibuga ku ofiisi z’ebyettaka, ne bamuteekako empingu ne bamutwala mu Nakibinge Zooni gy’asula ne baaza ennyumba nga tebanyeze mukyala we ne bamubuzaawo.

Laba 703x422

Kahwa

Betty Anyango, mukyala we ategeezezza nti bba tabadde na buzibu bwonna ku kyalo, wabula abadde n’enkaayana z’ettaka e Ngoma mu Nakaseke wakati we n’abantu abaali balipangisaako nga jjajjaawe Rose Nalumansi ta nafa.

Bano bazze beenyoola okumala akabanga era ng’agenda kubawangula era ng’ekiddako kuvaako.

Anyango yagambye nti ku lunaku Mmande, yava awaka n’agenda okukola mu kibuga n’akomawo ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo n’anona empapula ezikwata ku ttaka lyennyini eryo, yagenda okweekanga, ng’akomyewo n’abasajja basatu abaali mu ngoye zaabulijjo nga bamutadde ku mpingu ne bayingira naye ennyumba ne batandika okugikebera buli wamu.

“Nalaba nga mu biwandiiko bye, waliwo empapula ze baasikamu, ne bagenda nazo wabula nga ne bw’oyagala okwogera naye ng’omubuuza ekimutuuseeko, nga tebamukkiriza kwogera. Okuva kw’olwo talabikanga”, Anyango bwe yagambye.

Eric Nsabimana, ssentebe w’e Nakibinge zooni mu Makindye yagambye nti, Anyango yasooka kuddukira wuwe enkeera ng’alaba bba tadda, ne bakuba ku masimu ge nga tegayitamu, olwo ne bagenda bombi ku poliisi y’e Kabalagala ebali okumpi nga taliiyo, ne babasindika ku PSU e Bukoto nayo ne babagamba nti tebamulina.

“Aba PSU baatuwadde amagezi tugendeko ku poliisi ya CPS mu kampala ne bakebera mu biwandiiko byabwe nga tebamulina, mu za Flaying squad taliimu, ne mu malwaliro taliiyo.

Twagenze ku kitebe kya bambega e Kibuli ne batugamba okuddayo ku CPS ne batandika okukuba amasimu n’okuweereza obubaka mu bitundu eby’enjawulo naye akyabuze.

Ensonga z’okubuzibwawo kwa Fred Kahwa baagenze bazitegeeza poliisi ez’enjawulo okuli Kabalagala ku fayiro nnamba sD: 26/09/01/2019, CPS ku fayiro nnamba SD: 20/09/01/2019, ne poliisi endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo