TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuvubuka ayogedde engeri gye yasseemu abawala ba yunivasite Abacongo

Omuvubuka ayogedde engeri gye yasseemu abawala ba yunivasite Abacongo

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2019

OMUSAJJA agambibwa okutta abawala babiri e Mmengo emirambo naagiggalira mu nnyumba akkirizza bwe yaluka olukwe n’attottola n’engeri gye yabatta ng’ayambibwako mukwano gwe.

Yoyo 703x422

Justin Mashal eyakwatiddwa. Ku ddyo ye Naki ne Njiba abattiddwa

Bya JOSEPH MAKUMBI NE LAWRENCE KIZITO

Yagambye nti, yali ne munne omulala ne basalawo okuwamba abawala bano n’ekigendererwa eky’okufuna ssente okuva mu booluganda lwabwe, wabula ebintu ne bibatabukako abawala ne bafa.

Oluvannyuma lw’okumala ennaku ssatu nga bambega ba poliisi n’aba ISO nga bamukunya, omuvubuka Justin Mashal Sisco Malimali Ndihoma 24, yakkirizza nti ye yatta abawala ng’ali ne mukwano gwe omulala, kyokka n’agamba nti kyajja mu butanwa kubanga baali baagala kukola ssente mu bawala bano.

Yagambye nti kitaawe w’omu ku bawala mugagga nnyo era ali mu bizinensi ey’amaanyi mu D.R Congo; ng’ono gwe baali baagala okukanda ssente, balyoke bayimbule abawala.

Omuvubuka ono yagambye nti baateeka kalifoomu mu by’okulya n’eby’okunywa bye baawa abawala nga baagala bagonde baleme kulwana, kyokka nti kalifoomu n’asukka era abawala ne batadda ngulu.

Omulambo gw’omuwala omu gwasangibwa ku kitanda nga gugalamidde okwo ate omulambo gw’omuwala omulala ne gusangibwa nga gukuluddwa ne gusuulibwa okuliraana omulyango oguyingira mu sitoowa y’omuzigo Malimali gw’abadde apangisa e Mmengo - Kakeeka Zooni.

Abawala ababiri abattiddwa Hulda Njiba ne munne Safi Naki bombi nzaalwa z’e Congo era bajja mu Uganda okusoma ku yunivaasite y’e Kansanga eyitibwa International University of East Africa.

Omuvubuka Malimali naye yalaga nti yajja mu Uganda okusoma mu yunivaasite, wabula bambega bye baazudde biraga nti muserikale wa poliisi e Congo.

Baamukutte oluvannyuma lw’okugezaako okudduka mu ggwanga ng’ayita ku kisaawe e Ntebe kyokka bwe yatuuseeyo n’akizuula ng’ate paasipooti agyerabidde mu muzigo mwe battidde abawala ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Mu kutangatanga okwo ng’agezaako okukima paasipooti ye, awo we baamukwatidde.

Okusinziira ku nsonda ku poliisi ya Old Kampala gye baasibidde omuvubuka ono, bye yattottodde ebimu bikwatagana n’okunoonyereza bye kwazudde kyokka ebirala bikontana.

Omuvubuka yabadde akyagaanye okwogera munne gwe yabadde naye mu kutta abawala bano wabula abeebyokwerinda baategeezezza nti balina gwe bateebereza era bamulinnya kagere.

Ekimu ku bitakwatagana bambega kye beezinzeeko ky’eky’okuwamba omuvubuka ky’ayogerako.

Bambega bye baazudde biraga nti aludde nga muganzi w’omu ku bawala abattibwa (Hulda) wabula baafunamu obutakkaanya ng’omuvubuka ateebereza nti Hulda yafunyeeyo omusajja omulala.

Omuvubuka yakubira Hulda essimu ng’ayagala ajje amusisinkane ku muzigo gwe e Mmengo, wabula Hulda mu kwekengera n’asaba mukwano gwe Safi amuwerekereko era okukkana bombi nga battiddwa.

Kino kirowoozesa abeebyokwerinda nti yandiba nga yali asazeewo okutta Hulda olw’okufunayo omusajja omulala ng’ayagala bombi bamufi irwe, ate Safi n’afi ira mu kavuyo k’okwagala okusaanyaawo obujulizi.

Omulambo gwa Hulda gwasangibwa guli bwereere so ng’ate ogwa Safi gwali mu ngoye ekyongera okulaga nti akakuku baakalina ku Hulda.

Omulambo gwa Hulda gwalina ekiso mu ngalo, naye abeebyokwerinda bateebereza nti abatemu be baakissaamu okubuzaabuza obujulizi kubanga emirambo gyombi tegyaliko kisago kyonna.

Emirambo gy’abawala bano, gyazuulwa baliraanwa b’ennyumba mwe baabattira bwe baalaba embeera etali ya bulijjo efubutuka mu muzigo ng’ate balaba kuliko ekkufulu ate nga leediyo emaze ennaku bbiri ereekaanira waggulu tesirika kwe kukubira abakulembeze b’ekyalo.

Ku Lwokusatu emirambo gy’abawala gyaggyibwa e Mulago ne gitwalibwa e Mmengo mu ba kkampuni enziisi.

Ku Lwokutaano, emirambo baagiggye e Mmengo ne bagenda mu Kkanisa y’e Katwe (Assembly of Saints) ne basaba, oluvannyuma ne bagitwala mu limbo e Kisubi (Catholic Mission) gye baabaziise.

Poliisi ya Old Kampala yagguddewo fayiro CRB 030/2019. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Lucas Owoyesigyire yagambye nti, bakyanoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera