TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama agumbye ku Poliisi e Gayaza: Awakanya eky'okuyimbula eyasobezza ku muwala we

Maama agumbye ku Poliisi e Gayaza: Awakanya eky'okuyimbula eyasobezza ku muwala we

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2019

MAAMA agumbye ku poliisi y’e Gayaza ng’awakanya ekya poliisi okuyimbula omusajja eyasobezza ku muwala we.

Kwata 703x422

Namusoke n’omwana we.

Bya WASSWA B. SSENTONGO

Contilida Namusoke 43, yasazeewo okwebaka ku poliisi ng’ali ne muwala we ng’agirumirizza okuyimbula Moses Mulumba agambibwa okusobya ku muwala we ow’emyaka etaano gyokka nga kati alumizibwa mu bitundu bye ebyekyama.

Yagambye nti ekisinga okumuluma ye poliisi okuyimbula Mulumba amangu nga tebasoose kukola kunoonyereza kuzuula ekyabaddewo.

N’agamba nti ensonga eno poliisi yandibadde egitwala mu kkooti okusinga okuzeemalira ne batuuka n’okuyimbula Mulumba nga tawozeseddwa.

Yagambye nti muwala we alumizibwa ng’asiiba akaaba era talina kyayagala kulya. Ng’oggyeeko okulumizibwa ate takyalina ssanyu ng’omwana n’agamba nti awulira ennaku okulaba nga Mulumba eyandibadde akangavvulwa poliisi emutadde alye obutaala.

Yagambye nti tajja kuva ku poliisi okutuusa ng’amazima gavuddeyo Mulumba n’addamu n’akwatibwa n’avunaanibwa.

Yasabye abalwanirizi b’eddembe ne Gavumenti okumutaasa kubanga ye ng’omukyala talina maanyi gajja kulagira Mulumba kuvunaanibwa okuggyako okulaga obutali bumativu eri poliisi ku kye baakoze.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire yagambye nti Namusoke omusajja gw’alumiriza okusobya ku mwana we ye kitaawe nga mu kiseera ky’agamba nti weyamusoberezzaako baali bafunye obutakkaanya ne Mulumba nga yanoba naamulekera abaana kyokka yagenda okudda nga muwala we alumizibwa mu bitundu bye ebyekyama nga bweyamutwalira mu ddwaaliro lya poliisi ne bamutegeeza nga bw’aludde ebbanga ng’akozesebwa era omuntu abadde amukozesa muntu mukulu.

Owoyesigyire yagambye nti Mulumba yateebwa ku kakalu ka poliisi nga bwebakola okunoonyereza era fayiro y’omusango yatwalibwa ew’omuwaabi wa Gavumenti nga balindiridde ky’agenda okubasalirawo.

N’agamba nti bwe banaabalagira avunaanibwe bajja kuddamu bamukwate.

Mulumba yagaanyi okubaako ky’ayogera ku nsonga zino n’agamba nti ziri ku poliisi nga kye bamugamba ky’ajja okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...