TOP

Bassentebe ba LC3 bagenda kufuna pikipiki

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2019

BASSENTEBE ba LC3 bonna mu ggwanga bagenda kuweebwa pipikipi okulondoola pulojekiti za gavumenti eziri mu bitundu byabwe kiyambe gavumenti okutuusa obuweereza ku bantu.

Pata 703x422

Minisita Namuyangu n'omukungu Kumumanya nga bali mu lukung'aana lwa bannamawulire

Minisita w’eggwanga owa gavumenti z’ebitundu Jennipher Namuyangu yagambye nti minisitule ye egenda kumaliriza entegeka zino ezigenda n’okuzingiramu disitulikiti empya 16 ezaakatondebwawo.

Mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ogutandika June 2019 ba meeya ba munisipaali 41 bagenda kuwebwa emmottoka.

Bino yabyogeredde asisinkanye ba CAO ne Batawuni kiraaka mu munisipaali eziri mu Uganda olwabadde ku Hotel Africana mu Kampala.

Yagambye nti omwezi gwa June we gunagwerako ba ssentebe ba LC3 bajja kuba bamaze okufuna pikipiki.

Yasabye abakulembeze b’omu gavumenti z’ebitundu okukola pulaani ebitundu byabwe kwe bikulira  kuba ebibuga bigenze bigaziwa ku sipiidi ya kizungirizi.

‘’Tulina okutegeka engeri ebibuga gye bigenda okukulakulanamu. Uganda erina ebibuga 41 ebiri ku ddaala lya munisipaali na tawuni kanso 426 era waliwo entegeka ez’okubifuula ebibuga ebinene (cities) mwenda.

Omuwandiisi w’enkalakalirira mu minsitule, eno Benjamin Kumumanya yagambye nti munisipaali ezimu ziremeddwa okuwereza obulungi abantu.

N’agamba nti abakungu ba gavumenti abalemeddwa okuwereza obulungi abantu okugeza abalemesa emisaala okutuuka amangu ku bakozi, abazaayo ssente z’okukola enguudo mu ggwanika ly’eggwanga nga tezikoleddwa n’abalala bajja kukangavvulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.