TOP

Mwewale okutwalira amateeka mu ngalo - Poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2019

AKULIRA ebikwekweto ku poliisi y’e Kawanda Steven Nyaika asabye abatuuze b’e Kawanda okukomya okutwalira amateeka mu ngalo.

Funa1 703x422

Nyaika ng’ayogera n’abatuuze.

Nyaika yabadde asisinkanye abatuuze b’e Nkonkonjeru e Kawanda mu ggombolola y’e Nabweru n’agamba nti abantu b’omu kitundu kino basusse okutwalira amateeka mu ngalo nga bwe wabaawo omutawaana poliisi egenda okutuuka ng’omuntu bamusse.

Yagambye nti waliwo abantu abattibwa nga tebalina musango nga singa poliisi bagireka n’ekola omulimu gwayo kisobola okubayamba okufuna obwenkanya.

Abatuuze baagambye nti ababbi ababamazeeko emirembe be baleeta embeera eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA