TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNEB efulumizza ebyavudde mu bigezo bya PLE 2018

UNEB efulumizza ebyavudde mu bigezo bya PLE 2018

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2019

UNEB efulumizza ebyavudde mu bigezo bya PLE 2018

Unebplejanet 703x422

BIFULUMIZIDDWA minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Kataha Museveni.

Abayizi 671,923 be baatudde ebigezo bya P7 mu bifo 13,072 okwetooloola eggwanga.

Abawala bali 346,963 n’abalenzi 324,960, abayizi 476,131 baavudde mu masomero ga UPE ate 195,792 baavudde mu masomero g’obwannannyini.

Omuwendo gw’abaayitidde mu ddala erisooka gweyongeddeko era waabaddewo abayizi okweyongera okuyitira mu ddaala erisooka n’eryokubiri okusinziira ku bye baategeezezza minisita.

Kyategeezeddwa nti n’amasomero ga bonnabasome gaakoze bulungiko okusinga omwaka oguwedde ekyasanyudde minisita.

Enkola ya bonnabasome eyatandika mu 1997 kati ewezezza emyaka 21 era etenderezebwa olw’okulinnyisa omuwendo gw’abaana abasoma era bangi ku baana abaatudde PLE babadde mu nkola ya bonnabasome.

Bukedde agenda kukuwa byonna ebikwata ku bigezo n’engeri abayizi gye baakozeemu omwaka guno.

Tugenda kufulumya akatabo ak’enjawulo akakwata ku bigezo nga kaakufuluma olwaleero ku ssaawa 9:00 olweggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda

Jip1 220x290

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa...

Abavubuka ba DP basatu bakwatiddwa ku bya Bobi Wine

Kut2 220x290

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro...

Amagye gawadde Ssematimba ebiragiro

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu