TOP

Abalenzi baleebezza abawala mu bya PLE

By Muwanga Kakooza

Added 17th January 2019

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti abayizi abalenzi basinze abawala okukola obulungi.

Thursday991633393 703x422

Ebivudde  mu bigezo  ebifulumiziddwa  Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni biraze nti abayizi  669,728 be baabitudde , 77,573 ne bayitira mu ddaala erisooka, 273,668 ne bayitira mu ly’okubiri, 142,432 mu ly’okusatu, 107,601 lyakuna , 56,204 ne bagwa ate 12,250 tebaabitudde.

Ssabawandiisi w’ekitongole kya UNEB,  Dan Odongo yagambye nti omuwendo gw’abayizi abawala abaakoze ebigezo gwasinze abalenzi wadde abalenzi be baasinze okukola obulungi.

N’awa eky’okulabirako nti ku baayitidde mu ddaala erisooka 77,573 , abalenzi baabadde 41,604 ate abawala 35,527. Era ebigezo ebimu byakwatiddwa bwa bubbi.

Ssentebe w’ekitongole kya UNEB, Polof. Mary Okwakol yagambye  nti emu ku nkoppa eyeeyambisiddwa mu bigezo kwabaddeko abasomesa okuyamba abayizi nga babawandikira ansa ku lubaawo . Era guno omuze gwabadde mu masomero munaana e Bundibugyo ng’abazadde obubbi buno baabusasulira emitwalo 50,000/- mu maaso.

Waliwo n’abayizi abataasobodde kutuula olw’amasomero gaabwe obutabawandiisa kubikola wadde nga gaasaba abazadde ssente.

Muky. Janet Museveni yategeezezza nti  kyetaaga okutunuulira enklaliriza ensonga ezivuddeko omuwendo gw’abaana abalenzi abaatuula ebigezo okukendeera abawala baleme kubasuusuubako kuba bonna baana ba ggwanga.

N’agamba musanyufu olw’omuwendo gw’abayizi abatuula ebigezo bino okweyongera  omwaka guno.

Yagambye nti Minisitule tejja kuttira ku liiso ssomero lyonna litalina bisaanizo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal

Coutinho111 220x290

Coutinho bamwagalizza mikisa

Coutinho yeegasse ku Bayern ku bbanja okuva mu Barcelona

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...