TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire obukadde 380 lwa kumwonoonera linnya

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire obukadde 380 lwa kumwonoonera linnya

By Martin Ndijjo

Added 18th January 2019

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto. Kavuma ayagala Abtex amuliyirire obukadde 380 olw’okumwonoonera erinnya ng’amwogerako kalebule.

Panda 703x422

Musa Kavuma ne Abtex

Kavuma maneja wa Golden band agamba nti Abtex asusse okumwogerako kalebule nga yeeyambisa emikutu gy’amawulire ng’amulumba ng’omuntu ne kkampuni ye eya KT Events.

Ng’ayita mu bannamateeka be, aba Nsamba & Company Advocates, ku Lwokusatu nga January 16, 2019, Kavuma yawandiikidde Abtex ebbaluwa emulabula nga bw’agenda okumutwala mu kkooti ssinga takomya bikolwa bya kumulumba n’okumwogerera amafuukuule.

 • Yagasseeko nti ng’oggyeeko ensonga eziriwo kati mu ddiiro, aludde ng’alina obutakkaanya ne Kavuma gw’alumiriza okwagala okumusuula n’obutaagaliza era wano we yasinzidde okutiisatiisa nti ssinga Kavuma tamwesonyiwa agenda kwabya ebyama bye byonna n’ebikolobero byazze akola abantu.
 • “Byonna bye nayogera ku Kavuma ge mazima amereere sirina yadde n’ekigambo n’ekimu eky’obulimba oba ekivuma kye namwogerako kati siraba nsonga lwaki nneetonda. Bw’aba asazeewo kugenda mu kkooti nze ndi mwetegefu.”
 • Bano era bagamba nti Abtex yawaayiriza Kavuma nti ye yasuula ebibiina okuli: Diamond Productions, Eagles Productions nga kati ayagala kusuula Golden band. Baasambazze n’ebyayogerwa Abtex nti Kavuma ayagala kumutta nga bagamba nti byonna bigendereddwamu kwonoona linnya lya muntu waabwe.
 • Mu bbaaluwa eno bannamateeka ba Kavuma bagamba nti ng’ennaku z’omwezi December 21, 2018, Abtex ng’asinziira ku pulogulaamu ya ‘Koona’ eyali ekubirizibwa Miles Rwamiti, yayogera ebigambo by’obulimba ku linnya lya Kavuma ng’omuntu ne bizinensi ye eya KT Events.
 • Bagamba nti ebigambo bya Abtex tebyakoma ku kya kutattana n’okunafuya omuntu waabwe amanyiddwa ng’omutegesi w’ebivvulu ow’amaanyi mu ggwanga, yamusiiga n’ekifaananyi ky’omuntu atalina ky’asobola kukola n’ekigendererwa ky’okumwonoona mu bayimbi n’abantu abandiyagadde okumupangisa okubategekera ebivvulu.
 • Bannamateeka bano bagamba nti Abtex aswazizza nnyo omuntu waabwe n’okumwonoonera erinnya nga kati abantu bamulabira mu kifaananyi kikyamu. lKati baagala Abtex yeetondere Kavuma mu lujjudde ne ku Ttivvi kwe yasinziira okumulumba era baagala amuliyirire obukadde 380 olw’okumwonoonera erinnya. Abtex Ayanukudde Abtex yategeezezza ng’ebbaluwa ya Kavuma bwe yagifunye era ensonga amaze okuzikwasa bannamateeka be aba Katende Ssempebwa & Co Advocates nga kati alindiridde nsonga kuzongerayo mu kkooti zaabike emipiira.
 • Yagambye nti omuntu bw’ambuuza kye saagala ku Kavuma ne nkyogera mbeera nzizizza musango ki? Siyinza na kukirumamu nze Kavuma mumanyi ng’omusuubuzi so si pulomoota. Nze nkimanyi nti pulomoota asitula abayimbi oba ekintu okukitwala waggulu so si nga Kavuma bwakola ogw’okusuula ebibiina buli kyakutteko.
 • “Simanyidde ddala Kavuma kyanjagaza. Nkimanyi tanjagala era okusika omuguwa kuno tekutandise kati era buli lw’awulira nti Abtex alina ekirungi kyafunye oba akoze ekivvulu ne kikwatayo ng’azimba omutima naye anneegendereze. Olaba yalemwa Geoffrey Lutaaya ate nze Abtex empologoma. Ggwe muleke oba bye yali ayagala okukola Lutaaya alowooza tetubimanyi. Nja kubyogera’’.

KAVUMA AMWANUKUDDE

Mu kusooka Kavuma yagambye nti Abtex byonna byayogera bya bulimba na kwekwasa busonga songa naye ku mulundi guno tagenda kumusonyiwa kubanga asusse okumanyiira era ensonga azitwala mu kkooti.

Yayongeddeko nti sirina mpalana na Abtex era simulinaako buzibu wabula mpalana bigambo bye ebimuvaamu.

‘‘Nze ndiwo kunoonya ssente era obwongo bwange tebundagira kulwanira ku ssimu, ku ttivvi oba mu mpapula z’amawulire, bw’aba alina ekimuluma wa ddembe okukitambuza nga bw’akiraba naye nze nnina looya wange n’omwogezi wa kkampuni bajja kumukolako’’.

Ababiri bano baludde nga berumaaluma ne mu May wa 2017 baatabuka bubi nnyo nga Abtex alumiriza Kavuma okumusuuza ddiiru y’okutegeka emipiira gy’amasaza ga Buganda gy’amaze ebbanga ng’ategeka wabula bino Kavuma yabisambajja ng’agamba si bituufu.

Abiyingizzaamu Bebe Cool ne Kato Lubwama Abtex agamba nti wadde alina obutakkaanya ne Kavuma, ku mulundi guno tali yekka. Alina abantu abamuli emabega abamupika n’ekigendererwa ky’okumukuba ave mu nsiike ya myuziki.

“Byonna ebigenda mu maaso mbimanyi era nkimanyi nti Bebe Cool ne Kato Lubwama nabo abatanjagala be bali emabega wa Kavuma n’ekigendererwa ky’okulwanyisa Abtex ne Bajjo (Andy Mukasa) okulaba nga bava mu kutegeka ebivvulu kubanga tubadde nnyo ku ludda lwa Bobi Wine naye byonna bye bakola tebitukanga.

Bebe Cool ne Kato Lubwama babadde bakyogera lunye nti tebanjagala nze ne Bajjo era tebatumanyi nga bapulomoota.

Ate Bebe Cool gye buvuddeko yatuwaayiriza nti Pulezidenti Museveni yatuwa ssente akawumbi kamu naye ne bwe banaakola batya ffe tugenda kusigala ku nsonga.

Nze ndi munene okubeera mu ntalo za Abtex - Kato Lubwama Kato lubwama bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga za Abtex yagambye nti “buli muntu alina okumanya obuvunaanyizibwa bwe.

Abtex yava we yalina okukoma kati yeefudde omuntu ategeerera ensiike y’okuyimba mu ggwanga kyatasobola.

Abavubuka abo Abtex ne Bajjo basussiza akamanyiiro era nange nzize mbawulira nga bannumba naye bakikomye.

Abtex sirina kye mwa gaza Bebe Cool yagambye nti ebibi Abtex byazze akola abantu bye bimusumbuwa n’atuuka n’okulowooza nti buli muntu amuliko. Nze Abtex sirina kye mwagaza era anveeko.

Ensi yonna ebanja Abtex kyokka asiiba anvuma era bwe mba njagadde kumuwawaabira nkikola ng’omuntu si kuyita mu bantu balala.

Abtex ne banne bafubye okunyingiza mu bintu byabwe naye nze bandeke nnina ensonga ze nkolako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal