TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza ku mirimu gy’akakiiko

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza ku mirimu gy’akakiiko

By Hannington Nkalubo

Added 18th January 2019

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka mu kuggala bbanka z’ebyobusuubuzi obutaddamu kusisinkana bantu balala okutuuka ng’ekibiina kya FDC kimaze okutuuka ku nzikiriziganya n’akulira oludda oluvuganya mu Palamenti.

Img20190117wa0028 703x422

Kino we kijjidde nga wakyaliwo akaleega bikya ku ky’okwongezaayo ekisanja ky’akakiiko akakubirizibwa Abdu Katuntu (Bugweri) n’amyukibwa Annet Anita Among (mukazi/Bukedea) ekyaweddeko nga January 13, 2019.

Kadaga yalagira dda akakiiko ka COSASE kongerweyo ekiseera okutuuka nga February 20, 2019 lwe basuubira okuba nga bamalirizza okukola lipooti.

Kyokka kino ab’oludda oluvuganya bakiwakanya nga bagamba nti akakiiko kalina okufuna abakulembeze abapya abaalondebwa okuli; Mubarak Munyagwa (Kawempe South) nga ssentebe ng’amyukibwa Moses Kasibante (Lubaga North).

Ku Lwokubiri Kadaga yeesozze akafubo n’akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Betty Aol Ocan ne bakkiriziganya ku okwongezaayo ekiseera ky’akakiiko okutuuka nga February 15, 2019.

Kyokka enzikiriziganya eyatuukiddwaako abakulembeze ba FDC baziwakanya nga bagamba nti Ocan yakoze nsobi okwekkiririranya.

Omumyuka wa Ssaabawandiisi wa FDC, Horold Kaijja yagambye nti bagenda kutuula ku Mmande ya wiiki ejja ng’ekibiina basalewo ekiddako.

Basuubira Ocan okusooka okubalambululira byonna ebyali mu nteeseganya ne Sipiika.

Kadaga eggulo bwe yabadde ayogera ne bannamawulire yagambye nti olw’okuba Ocan tannaba kukkaanya na kibiina kya FDC, yawabudde akakiiko ka COSASE okusooka okulindako okusisinkana abantu abalala mu kubuuliriza kwe baliko.

Moses Kasibante (Lubaga North) yategeezezza nti akulira oludda oluvuganya Gavumenti akafubo ke yabaddemu ebyakavuddemu ateekwa kusooka kubyanjulira kibiina kye ekya FDC ekyamusindika mu palamenti wabula ate Sipiika yateekwa okubimwogerera mu palamenti.

Kasibante yagambye nti tewali kakiiko kateekwa kutuula kukola mulimu gwonna nga kakubirizibwa abakulembeze abakadde n’akikkaatirizza nti si waakuddamu kulinnya mu kakiiko nga kakyakubirizibwa Katuntu nga ssentebe n’omumyuka we Among.

Ku Lwokusatu, ababaka baabadde basuubira Sipiika okwanjulira palamenti ebyavudde mu kafubo ke yabaddemu n’akulira oludda oluvuganya Gavumenti kyokka teyabyanjudde mu butongole.

Florence Namayanja (Bukoto East) yategeezezza nti balindiridde kiva mu Sipiika bategeere obukiiko bwe buyimiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.