TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agula emmaali y’omufu mu bukyamu lindirira muliro

Agula emmaali y’omufu mu bukyamu lindirira muliro

By Musasi wa Bukedde

Added 18th January 2019

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera akujjuludde.

Malawo 703x422

Owookubiri ku kkono, Sheikh Muhammad Lunaanoba ng’abulira bamaseeka ku nsonga z’okukola ekiraamo.

Ate bw’obikola kikukakatako okulaamira aba famire yo engabanya yaabyo buli omu n’afuna ebibye.

Sheikh Muhammad Lunaanoba, omukulembeze wa Juma ne Zukuli mu Uganda era nga y’akulira bamaseeka mu ggwanga agamba nti: Omuntu yenna mu bulamu bw’ensi eno abeera alina obuyinza ku bintu bye byonna by’abeera yafuna mu ngeri zino essatu:

 Kye yafuna ng'akiguze buguzi ne ssente ze.

 Ekyo kye yasikira mu butuufu bwakyo ku muntu eyafa.

 Ekyo ekibeera kyamutonerwa. Noolwekyo omuntu bw'afa byonna by’abeera yafuna mu limu ku makubo ago abasika be eddiini b’ekkiriza babifuna oba babigabana mu linnya lye. Abasika abatuufu eddiini b’emanyi be bano:

Abazadde ababiri, abafumbo, omwami oba omukyala n'abaana.

Abaana bateekwa buteekwa okufuna ku mmaali y'omuntu abeera afudde.

Naye abafu oluusi balaama abantu baabwe abalala abalina okugabana ku bintu byabwe.

Kyokka eddiini egamba nti, bano bateekeddwa kuweebwa kw’ebyo ebyassibwa mu kiraamo kyokka era bw’aba omuntu bw’ati yalaamirwa okufuna omugabo omunene okusinga ku bafamire, eddiini tekikkiriza kukimuwa kubanga buli ali mu nsi akolerera famire ye.

Sulati Nisahi ennyonnyola ensonga eno:

Omuntu atalina muntu yenna amukwatako eddiini emukkiriza ebintu okubiraamira ediini ey’Obusiraamu n’asalawo gye biraga.

Wabula ssinga omuntu afa nga talaamye, abakulembeze mu ddiini batuula wamu n’abo abalina obuvunaanyizibwa ku mmaali ye ne bagigaba okusinziira ku mateeka ga Kulaani.

Omuntu ne bw’abeera alaamye naye ebintu ne biweebwa omwana akyali omuto, omukuza abivunaanyizibwako okubitereka obulungi n’abimuwa ng’akuze.

Waliwo abantu abalwanira ebintu by'abafu ebitaabaweebwa ne babyezza, bano Allah abalinze okubookya omuliro ogw’obugenderevu.

Kyokka era okutunda ebintu by’omufu ebikalu ka bibeere biggya kimu ku bitakkirizibwa era n'omuntu abiguze, obuguzi bwe tebukkirizibwa mu Busiraamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.