TOP

‘Muntaase puleesa egenda kunzita lwa ttaka’

By Musasi wa Bukedde

Added 18th January 2019

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku John Matovu agenda okumussa puleesa lwa kumutwalako ekibanja kye.

Yaga 703x422

Kigudde (ku ddyo) nga bamukwatiridde mu kakiiko k’ebyettaka.

Kigudde omutuuze we Katalemwa mu Kawempe yategeezezza omulamuzi Catherine Bamugemereire nti buli lw’alowooza ku kibanja kye Matovu kye yamutwalako oba okumulabako puleesa zimukubirawo era kati obulamu bwe buli mu lusuubo.

Kigudde yaabadde ssentebe we Katalemwa.

Yagambye nti takyajjukira gwe yagulako kibanja mu 1968 naye kiri ku ttaka lya Namasole Baagalayaze nga kuno Matovu kwe yamulumba n’ekibinja ky’abavubuka 40 ne basaawa ebitooke bye ne bamenya ekiyumba ky’embuzi n’effumbiro lye.

“Ekisinga okunnuma era ekinkubisa puleesa ly’ejjoogo lya Matovu.

Amabaati ge yaggya ku kiyumba ky’embuzi n’effumbiro n’emitti bye yakozesa okukola olukomera ku ttaka lye yanzibako,” bwatyo Kigudde bwe yagambye akakiiko.

Kigudde yagambye nti tamanyi bunene bwa kibanja kye naye amanyi ensalosalo zaakyo kuba abaddeko okuva mu mwaka 1960 era kw’azaalidde abaana be 15 okutuusa 2017 Matovu bwe yajja n’ekyapa ng’agamba nti kati ettaka lirye.

Yannyonnyodde akakiiko nti yateeka envumbo ku kibanja kye naye nga Matovu ayita mu banene baagiggyako nga tebamuwadde nsonga yonna.

Yasabye akakiiko kamuyambe kalagire Matovu amuliyirire emmere yonna gye yasaawa n’ebintu bye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...