BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE NG’ALIMU EBIKULU BINO
Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga bajaganya.
Omusuubuzi abadde ategeka okwanjulwa akubiddwa oluggi lwa galagi ne lumuttirawo bw’abadde ayingiza mmotoka!
Tukulaze ensonga lwaki Dr. Stella Nyanzi akyalemedde e Luzira.
Mu Akezimbira: Tosubwa engeri gy’otetenkanya kasasiro atera okufuuka ekizibu awaka.
Mu Byemizannyo: Tukulaze engeri Arsenal ne Chelsea gye bayungudde ebyasi nga buli ludda luwera okumegga lunnaalwo.