SUPREME mufti wa Uganda Siliman Kalule Ndirangwa, akolukose gavumenti ebagamba okwegatta okusooka okubatuuza basooke bagonjole ensonga ezaasoba era ezabaviirako okweyawula.
“ Tewali musiramu atayagala kwegatta era bwosanga omusiramu atakkiririza mu kya kwegatta oyo taba musiramu naye mu kino ekyasa kya bayivu omuntu Takoma bukomi mu kwogera ku kya kwegatta wabula kwekusooka okutuuza enjuyi zombi ne twogeera ensonga zaabwe ezaabaawula, “ Ndirangwa bweyategeeza.
Ndirangwa okwogeera bino yabadde mu kuziika kw’abasiramu ababiri abafamire emu e Gombe mu disitulikiti ye Butambala abaafudde mu kabenje k'ambulance eyabadde atwala mukulu waabwe mu ddwaliro e Mulago.
Bano okwabadde Mustafah Kanoonya 82 ne Asuman Kitaka basooka kutwalibwa mu ddwaaliro Mulago oluvannyuma lwokuggwa ku kabenje bwebaali bagenda mu ddwaaliro e Kibuli gye baali batwala Hajji Mustafah Kanoonya eyali omulwadde ne bagwa ku kabenje emmotoka yaabwe ey'ekika kya Ambyulensi UBA513B bweyatomeregaana ne Lukuluaana UBE164D ku luguudo lw'eNtebe mu Kampala.
Mu kabenje kano abantu babiri bafiirawo wabula oluvannyuma abalala basatu nabo ne bafiira e Mulago gye babadde batwaliddwa.