TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni atongozza ekizimbe kya URA eky’emyaliiro 22 n’alabula abakozi ku buli bw’enguzi

Museveni atongozza ekizimbe kya URA eky’emyaliiro 22 n’alabula abakozi ku buli bw’enguzi

By Samuel Balagadde

Added 20th January 2019

Museveni atongozza ekizimbe kya URA eky’emyaliiro 22 n’alabula abakozi ku buli bw’enguzi.

Rap1 703x422

Museveni ng'asimba omuti ogw'ekijjukizo

PULEZIDENTI Museveni atongozza  ekizimbe kya  URA ekya  URA  Towers  eky’emyaliiro 22 nga kyekikyasinga obuwanvu mu Uganda  n’alabula abakozi  ku  buli bw’enguzi ssaako n’okulagajjavu  mu kukebera eby’amaguzi ebiyingizibwa mu ggwanga.

Museveni  yagambye nti  abakozi ba URA ku nsalo za Uganda  n’amawanga ag’’omulirano awayita  mmotoka  z’ebyamaguzi bateekwa  okuba  n’ebyuma ebitangaza buli kidduka okusobola okulaba buli kintu ekiri munda.

“Kyenjogerako nkimanyi okubasinga kuba  nnayingiza  emmundu okuva e Moshi okuzituusa mu Uganda  endalala mukwano gwange   omugenzi Gadaffi  yazimpa  mu  1985 n’enziyisa  e Bujumbura  ekya Burundi wabula nga  nzitambuza ku mmotoka okuyingiza mu Uganda ku nguudo,” Museveni bweyagambye.

Museveni ku mukolo gw’okutongoza  ekizimbe kino e Nakawa ku Lwomukaaga yalagidde aba URA  okulaba nga basaba   minisitule y’ebyensimbi   ssente ezimala okuaaba nga  bagula ebyuma bino ebitaangaza  kuba  bwebataba nabyo  baba tebalina kyebakola okujjako okwerimba .

Nate yalagidde  URA  okwongera okulondoola  amadukanya amakampuni g’amasimu  ssaako ne Mobile Money okulaba nga si bbo bebabuulira ssente zebakunyanyizza   ez'okujjako musolo wabula  okulaba nga buli ssimu  ekubwa nga URA  yeegirondoola.

“URA  mulina okulaba nga  temumala budde  bwa basuubuzi oba  omuntu  yenna aba agenze okuwa omusolo kuba  abo  bebayimirizzawo eby’enfuina  y’eggwanga ,” Museveni bweyagambye .

Yalagidde Doris  Akol akulira URA okulaba ng’agoba abo  balaba nga  bakyamu mu kitongole kino   n’agamba  nti yawalirizibwa okugoba Kamisona  mu kitongole  kuno eyali agezaako okulembe yinvesita  Omuchina  ng’akozesa omuyinza bwe  ng’okukulira eggwanga lino.

Ye Doris Akol yagambye nti  basobole  okulinyisa ssente zebasolooza mu musolo okuba mu buwumbi butaano  mu mwaka gwa 1986  ggavumenti ya  NRM bweyayingirira mu buyinza okutuuka  ku  buwumbu 16,000.

Yagambye nti   okumaliriza  ekizimbe kino kigenda kutaasa ssente obuwumbu musanvu n’ekitundu zebabadde  basaasanya  ku bupangisa  bw’ebizimbe   nga mu Kampala mwokka  okuli n’ekya  Crested  Towers

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.