TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Harvest Money akuleetedde omusomo gw’okulima obutiko

Harvest Money akuleetedde omusomo gw’okulima obutiko

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2019

ABEL Kiddu omulimi w’obutiko mu munisipaali y’e Makindye mu Luvuuma Zooni y’omu ku bawanguzi b’empaka z’omulimi asinga 2018 nga mulimi wa butiko.

Kwata 703x422

Kiddu ng’alabirira obutiko bw’alima.

Agamba nti obutiko kye kimu ku bintu ebisinga obwangu okulima ate ebirina akatale era ng’abantu bangi abatandika okulima obutiko kyokka olw’obutamanya kye balina kukola, ensobi ze bakola zibafi iriza ssente ne batuuka n’okulowooza nti tebuliimu ssente.

Kiddu omu ku bagenda okusomesa mu mwoleso gwa Harvest Money ogutegekebwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde nga February 15-17, yali akola ne kkampuni y’amafuta eya CNOOC Uganda n’ayingira okulima obutiko okwongera ku nnyingiza ye.

“Abazadde bangi balina ebintu bye bakola kyokka ne batafaayo kubyagazisa baana baabwe ate oluusi abaana bennyini ne banyooma emirimu gya bazadde baabwe nga balowooza nti olw’okuba baasoma, bagenda kufuna emirimu gy’ebbeeyi, okumaliriza nga basigadde ku byalo balera ngalo”, Kiddu bw’agamba.

Okulima obutiko gwali mulimu gwa nnyina Joyce Wasswa ow’e Makindye nga 2010 we yatandikira nnyina yali asobola okuyingiza 20,000/- olunaku wabula nga ye mu kiseera kino asobola okutunda kiro z’obutiko 100 ku 6,000/- buli kiro n’ebirimiro ebisukka mu 1,000 nga buli kimu kya 3,000/-.

EBYOKUYIGA Ekiyumba:

Ekimu ku bisinga okulemesa abalimi b’obutiko y’enzimba y’ekiyumba omulimirwa obutiko.

Ekiyumba kino tekirina kuyingiramu kasana wadde okubeeramu ebbugumu kyokka abamu babussa mu bbugumu ekibulemesa okukula obulungi.

Okukola ebirimiro:

Ebirimiro ye nnamuziga okutambulira okulima obutiko. Abalimi bangi abalemwa okulima obutiko olw’obutamanya ngeri ntuufu ya kukola n’okuteekateeka obulungi ebirimiro obutiko bwabwe busobole okukulirako nga bulamu ate nga bulungi.

Noolwekyo ggwe ayagala okulima obutiko, olina okumanya engeri entuufu ey’okuteekateeka ebirimiro oleme kufiirizibwa.

Okulima obutiko:

Kiddu alina ebirimiro 5,500, mu mitendera gya njawulo okusobola okusigala ng’afuna obutiko bw’akungula buli lunaku.

Ebintu bingi by’olina okutunuulira mu kulima obutiko omuli okufukirira, okukuuma obunnyogovu mu kiyumba n’ebirala nga bino by’ebigenda okukuyamba okufuna mu butiko bwo.

Akatale:

Ekimu ku bisinga okutawaanya abalimi b’obutiko ke katale. Akatale katandikira ku bantu abakuliraanye kuba ennaku zino abantu batandise okumanya obutiko buno.

Noolwekyo fuba okumanyisa abantu abakuliraanye nti olina obutiko be bakasitoma bo abasooka nga wano osobola okubutwala ku maduuka, amasomero, kkampuni n’ebitongole n’obutale ebikuliraanye. Awalala awali akatale ze Supamaketi, wooteeri n’awalala.

Okukuuma omutindo: Omutindo kikulu nnyo mu buli kikolebwa ng’okusobola okufuna akatale olina okukuuma omutindo.

Omutindo guno gutwaliramu ebika okuli; Oyter White, Oyter brown ne Oyter grey.

Olina okugoberera obudde bw’okufukirira, obukulu bw’olina okunogerako n’ebirala.

Okwekolera ensigo:

Ensigo kimu ku bintu ebisinga okutawaanya abalimi ng’emu ebeera nfu, okulwawo okugifuna, ebbeeyi okukyukakyuka n’ebirala.

Ensigo ku katiko era ng’eyita mu mitendera egy’enjawulo okutuuka lw’ofuna ensigo ewedde obulungi okussa mu birimiro.

Enkwata ya kasasiro:

Bangi ku balima obutiko babeera mu bibuga, olina okumanya engeri y’okukwatamu kasasiro avudde mu mitendera gyonna egy’okulima obutiko okuva ku kuteekateeka okutuuka ku birimiro ebiweddemu.

Jjukira nti ebiweddemu obutiko, birina akatale. Engeri gye kiri nti biva mu ppamba akozesebwa mu kutabula emmere y’ebisolo, abalunzi b’embizzi babigula okubikozesa okutabula emmere y’embizzi zaabwe ate abalala babikozesa ng’ekijimusa.

Okuyingira mu mwoleso gwa Harvest Money osasula 10,000/- ate okutendekebwa nakwo kwa 10,000/- buli lunaku era ng’ebyokusoma, okulambula n’okuyiga ntoko, okukakasa nti tosigala nga bwe wazze laba ng’ebibuuzo byo n’okusomoozebwa biddiddwaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...