TOP

Omuwala yannimba ne mwesonyiwa

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2019

NZE Robert Ssekibuule 36, mbeera Naalyankanja mu Mityana. Bwe nnali nkyanoonya omuwala ow’okuwasa, nasalawo nfune oyo omutima gwange gwe gwegomba era nnaguma ne ηηamba omu ku bawala omutima gwange gwe gwali gwegombye.

Pta 703x422

Omuwala ono yali abeera Butaleega era mu Mityana.

Omuwala nasooka ne mmutya okubeerako ne kye mmugamba anti ng’ennyirira gy’anyiriramu etiisa omuntu atalina ssente okumutuukirira naye lwali olwo nange ne nnevaamu ne mmugamba ekigambo ky’omukwano gwe nnina gy’ali.

Wabula naye teyambeerera muzibu nga bwe nnali nkisuubira newankubadde yamala n’akyusa enneeyisa ye.

Okumanya omuwala ono yanjooga, twatuuka ne twogerezeganya bulungi era ne tuteesa nga tulina okusisinkana ku lunaku olwo lwe twasalawo nange ne nsanyuka nga mmanyi nti munnange by’anhhamba bya ddala naye nneewunya okutuuka mu kifo nga tabeerangawo.

Nasooka ne ngumagumako nga ndowooza oba oli awo anajja naye nga wwa! era nange bwe nnalaba nga obudde buyitidde ddala nnasalawo okubyesonyiwa ng’olwo nkakasirizza ddala nti eby’okumulaba binsaze.

Kyokka ekyammala amaanyi, ku ssaawa esembayo nga mmaze okubigatta n’okubirowooza byonna ze ssente zange ze nnali mutaddemu kubanga buli kye yali ansaba nga nkimuwa.

Nange bwe nagattagatta byonna omuwala ono bye yali ankoze kwe kusalawo okumwesonyiyira ddala.

Ne bwe yankubiranga essimu nga sitawaana kugikwata okutuusa naye bwe yakoowa n’abivaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...