TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooludda oluvuganya baagala Gav't ewere eby'okusoma S.5 ne S.6

Abooludda oluvuganya baagala Gav't ewere eby'okusoma S.5 ne S.6

By Musasi wa Bukedde

Added 21st January 2019

ABOLUDDA oluvuganya baagala gavumenti eggyewo eby’okusoma siniya ey’okutaano n’eyomukaaga ebisikize okutendeka abayizi mu misomo gy’emikono kye basuubira nti kijja kukendeeza ku bbula ly’emirimu.

Aaaaaaabig703422 703x422

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Betty Aol Ochan ng'aliko by'annyonnyola mu Palamenti gye buvuddeko

ABOLUDDA oluvuganya baagala gavumenti eggyewo eby’okusoma Ssiniya ey’okutaano n’eyoomukaaga ebisikize okutendeka abayizi mu misomo gy’emikono kye basuubira nti kijja kukendeeza ku bbula ly’emirimu.

Mu nkola eno ab’oludda oluvuganya bagamba nti omuyizi asaanye asome emyaka musanvu mu pulayimale, ena mu siniya , ebiri mu by’emikono n’obukugu obulala obw’emirimu gy’emitwe olwo abasobola beeyongereyo ku diguli ne dipuloma mu misomo gye baagala.

Bino biri mu kiwandiiko ky’akulira oludda oluvuganya  gavumenti mu palamenti Betty Aol ekikwata ku bbago lya bajeti egenda okusomwa  mu June 2019.

Aol agamba nti ensoma eriwo etwala obudde bungi ng’ekakatika mu bayizi endowooza za kufuna mirimu mu mawofeesi egitakyalabika ng’ekivuddemu ly’ebbula ly’emirimu.

Aol alaga nti ab’oludda oluvuganya  beenkengedde nti gavumenti eyinza obutayongoza misaala gy’abakozi baayo  mu bajeti egenda okusomwa mu June 2019 kuba ensimbi ez’okubongeza teziriimu.

Yategeezezza nti ensimbi z’okusasula abakozi ba gavumenti mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ziragiddwa mu bbago nti ziri obutabalika buna (4.2 trillion) ekitegeeza nti zigenda kusigala  nga  bwe zibadde mu bajeti y’omwaka guno nga tewali ssuubi lya kwongeza misaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Osire1 220x290

Bakutte abadde yeeyita dokita n'abba...

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa...

Zuukuka2 220x290

Abakazi abannyogoga ebisambi eddagala...

Kiba kirungi omukazi naddala awezezza emya 40 okwesogga obuliri nga bukyali omusajja akusangeyo. Kubanga kitwala...

Blackcouplearguin10 220x290

Omukazi annangira obwavu

Ssenga, mukyala wange simutegeera bulungi. Okusookera ddala yali mukyala muwulize naye kati tawulira n’akamu. Bw’omugambako...

Gamba1 220x290

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka:...

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka: Bamwanirizza nga muzira

Mukadde1xx 220x290

Asobeddwa kibuyaga bw'asudde ennyumba...

Nanfuka agamba nti ennyumba yagudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde mu nkuba eyatonnye ng’erimu ne kibuyaga