TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mujje mu Harvest Money musomesebwa okulimira ku kasolya ky'ennyumba

Mujje mu Harvest Money musomesebwa okulimira ku kasolya ky'ennyumba

By Herbert Musoke

Added 22nd January 2019

NG’ETTAKA lyongera okukendeera buli lukya, omufuna obukugu okulimira mu kifo ekifunda ly’ekkubo okusobozesa abantu okusigala nga balima ekiseera kyonna.

Nambatya3 703x422

Olw’embeera eno, Vision Group etwala ne Bukedde, ekutegekedde omusomo ku kulima n’okulundira awafunda abakugu; Pulof. Diana Nambatya Nsubuga owa Kwagala Mixed farm e Kulambiro era omuwanguzi w’empaka z’Omulimi asinga ne Harriet Nakabaale owa Camp Green bwe bagenda okukuwera amagezi g’ekikugu ag’okulira awafunda ofune ssente.

Pulof. Nambatya amanyiddwa nnyo mu kusomesa n’okutendeka abakyala n’abavubuka mu kulimira awafunda mu ngeri y’omulembe nga yakwatagana n’ekitongole kya Department of Industrial Training mu minisitule y’ebyenjigiriza okugabira abatendekeddwa satifikeeti ze basobola okukozesa okufuna emirimu oba okweyongerayo mu matendekero ga waggulu.

Ye Muky. Nakabaale mulimi era mukugu mu kuteekateeka ennimiro z’omu bibuga n’ebifo ebifunda.

Ono yeeyategeka ennimiro ya KCCA e Kyanja abalimi we basomeserezebwa okulira awafunda era ng’atambula amawanga ag’enjawulo omuli Rwanda, Congo n’awalala okubayamba okuteekateeka ennimiro zaabwe.

Bano bagenda kukusomesa entabula y’ettaka, ebika by’ennimiro, okufuirira, okunoonya akatale, okugattako omutindo, okulundira awafuna n’ebirala.

Polof. Nambatya agamba nti mu mbeera y’ebyenfuna eyeeyongera okwereega buli lunaku, tetulina kulinda kufuna byalo bya ttaka okutandika okulima wabula okukozesa amagezi g’ekikugu okulimira awafunda okwongeza ku nnyingiza. “Tugenda kusomesa abantu okulimira ku kasolya!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...