TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebireetera omusajja okufunyisa omukazi olubuto n’amusuulawo

Ebireetera omusajja okufunyisa omukazi olubuto n’amusuulawo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2019

MUKWANO njagala onzaalireyo omwana akufaanana.., “ Ebyo bye bimu ku bigambo abasajja bye bakozesa nga basaba abawala n’abakazi be baganzizza okwongera okubawangula emitima.

Need 703x422

Era abakazi n’abawala bangi abagudde mu katego kano, kuba bw’awulira nga munne amwegayirira okumuzaalirayo, olwo nga naye essira alissa ku kufuna lubuto.

Eby’embi abasajja abamu wadde bino babyogera naye baba tebabitegeeza, era omuwala olufuna olubuto ate ng’atandika kumuwoleza nga bw’atali mwetegefu kuzaala.

Jane Namakula ow’e Mukono embeera eno yagituukamu, era okuva olwo yeevuma obulimba bw’abasajja.

“ Gaayi yankwana ng’ansuubizza okumpasa, kubanga teyalina mukazi mu kiseera ekyo.

Twatandika bulungi era nga buli lwe tubeera ffembi abeera ayogera ku biseera byaffe eby’omu maaso. Mu kiseera ekyo nnali nsoma ku yunivasite mu mwaka ogwokubiri.

Lumu nagenda okulaba nga sigenze mu nsonga ne mmanya nti ndabika nfunye olubuto.

Wadde nnali nkyali mu bazadde saakitya nnyo kubanga munnange yali aludde ng’agamba nti engeri yokka gye nsobola okumukakasa nti mmwagala kwe kumuzaalira.

Wabula kyambukako, bwe namutegeeza nga bwendi olubuto ate ne yeecanga. Yasooka kuηηamba nduggyemu ne ηηaana.

Yatandika mpola okunneesalako nga bwe mukubira takwata, eyannoonyanga nga takyajja.

Ensonga naziyitiramu bazadde bange, wadde baayisibwa bubi naye bakkiriza okundabirira okutuusa bwe nnazaala.

Okuva olwo ggaayi namwesonyiwa ne nsalawo okubeera n’omwana wange.” Ng’oggyeeko abawala abalimbibwalimbibwa abasajja, naye ate eriyo n’abawala oba abakazi abasalawo okufuna embuto mu basajja basobole okubefunza.

Bano baba bakimanyi nti omusajja bw’anaamanya nti ali lubuto lwe, kijja kuba kizibu okumukyawa. Waliwo abamu kino abakifunyeemu era ne bafuna obufumbo, naye ate abamu bibasala.

BW’OZAALIRA OMUSAJJA NG’OMWEFUNZA?

Abakyala bangi bakitwala nti bw’ozaalira omusajja abeera afuuse wuwo. Era bangi bw’afuna omusajja ng’alinawo ku ssente, ekiddako kuba kunoonya lubuto atere azaale.

Abamu batuuka n’okukiyita ekyapa, wabula ate oluusi gye biggweera ng’omusajja amuleseewo olwo n’afuuka ‘single mother’.

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo agamba nti endowoooza eno abakyala gye balina nkyamu nnyo kuba omusajja okwegatta naawe tekitegeeza nti ggwe gw’ayagala okuwasa.

Mukisa agamba nti okuzaala edda kyalinga kitwalibwa ng’ekikulu era ng’omukyala atwala obudde okwetegereza gw’agenda okuzaalira nga n’abasajja tebamala gafunyisa bakyala mbuto be batali beetegefu kuwasa era abasajja baamanyanga nti omukyala gw’azaddemu abaana alina kumuwasa.

Naye abasajja ennaku zino okuzaala mu mukyala bakitwala nga kya bulijjo era tekitegeeza nti afuuse mukaziwe kuba kati abasinga yeegatta n’omukazi si lwakuba nti amwagala wabula lwa kinyumu oba nnyonta ya kaboozi ate ng’abamu omukazi abeera akimanyi bulungi nti omusajja oyo tamwagala.

Wabula omukazi ye olw’okwagala okusikiriza omusajja amwagale oba ayongere okumufunza asalawo kuzaala mwana kitali kituufu kuba okwagala tekuva ku mwana omuntu asobola okukwagala bw’omu ne bw’oba tomuzaalidde.

Noolwekyo abakyala balina okukimanya nti okwefunza oba okwagalwa omusajja tekuba kumuzaalira mwana wabula omuntu aba akwagala nga ggwe nga ne bw’omuzaalira omwana ng’omutima gwe teguli ku ggwe tayinza kukwagala okuggyako okweteeka mu maziga n’okukufuula eggaali ekozeeko ng’amaze okukuzaalamu n’akusuulawo.

Mu mbeera eno ebintu bingi ebivaako abasajja okudduka ku bakyala nga bafunye embuto oba okubasuulawo ne bwe baba bazadde.

1 Aba takwagala. Abakazi balina okukiyiga nti si buli musajja gwe weeyambulira oba akweyambulira ne mwegatta naye aba akwagala, abamu baba baagala kitundu ku ggwe era bw’amala okukifuna kiba kiwedde noolwekyo olw’okuba ggwe takwagala ne bw’omuzaalira omwana aba tajja kumwagala wabula alina kukuddukako.

2 Abakyala eky’okufuna embuto nga temusoose kuteesa na musajja kibanyiiza. Omusajja ayinza okuba nga kituufu alina essuubi ly’okukuwasa, kyokka ng’akyalina bye yeekenneenya, wabula bw’alaba ng’opapa okufuna olubuto kuba abamu batuuka n’okulimba abasajja nti bali ku famire pulaaningi ekireetera omusajja okufunamu okutya ng’alowooza nti olina ebirala bye weenoonyeza.

3 Empisa. Abakazi abamu balina obuzibu nti balaga empisa ennungi mu ntandikwa kyokka bwe bamala okufuna embuto ne bazaala nga balowooza nti kiwedde, olwo nga batandika okuyisa abasajja obubi ne beerabira nti omusajja okulekera omukyala omwana n’amusulawo takirinaako buzibu.

4 Kiraasi omuwala gye yeetwaliramu ng’omusajja akyamukwana nayo nsonga nkulu. Abawala abamu mu biseera bye babeera mu kwekwana n’abasajja babalaga nnyo nti kiraasi zaabwe za waggulu oba obulamu bwabwe bwa bbeeyi, kati omusajja olumu bwe yeepimamu ng’alaba oli wa bbeeyi ayiiya ngeri ya kukwesalako nga ne bw’akufunyisa olubuto oba ozadde omutima gusigala gumugamba nti tasobola kukubeezaawo okuggyako okukuddukako ne musigaza mwana.

5 Abasajja batya obuvunaanyizibwa. Abasajja abamu batya obuvunaanyizibwa bw’okulabirira amaka wadde ng’abeera akwetaaga n’omwana nga yandyetaaze okumuzaala, naye olw’okutya obuvunaanyizibwa waakiri afuna akasonga ke yeekwasa n’akusuulawo kyokka nga ggwe mukaziwattu okutuuka okumuzaalira wali obaza kumwefunza.

6 Abasajja abeetegefu okutandika obufumbo ennaku zino batono. Abasajja abamu baba baagala abaana era nga balina obusobozi obubalabirira naye nga si beetegefu kuyingirira bufumbo olw’ensonga ez’enjawulo. Abamu mu maka mwe yakulira nga yalaba nnyina ayisa bubi kitaawe oba olw’ebigambo by’abuwulirako nga ggwe ne bw’omuzaalira osobole okumwefunza oba akuwase, weesanga akusuddewo.

7 Obuwangwa. Abasajja abamu bafunyisa abakyala embuto nga tebasoose kubanoonyerezaako kimala kyokka bwe bamala okugeraageranya enjawukana zaabwe mu mawanga nga bakizuula nti tebajja kusobola kubeera bombi, ekivaamu kumuleka, olwo omuwala n’afuuka ‘single mother’, olumu nga n’emikisa gye agyonoonye.

8 Enjawukana mu ddiini. Eddiini oba enzikiriza y’omuntu kintu kikulu eri oyo gw’agenda okufumbirwa oba okuwasa. Ky’ova olaba omusajja ne bw’omuzaalira omwana akwagale oba omwefunze naye ng’alaba temukwatagana mu nzikiriza kisobola okuvaako obuzibu ne mwawukana n’afuna omulala bwe bafaananya enzikiriza.

9 Okuzaala abaana ebweru kyafuuka kya bulijjo. Wadde abakyala kibalemye okutegeera naye balina okukimanya nti kati abasajja okuzaala abaana mu bakazi be batagenda kuwasa tebakyakitya era kyangu nnyo omusajja okulimba omukazi n’amuzaalamu ng’omukazi alowooza nti agenda kumwefunza naye n’amulekawo kuba gye bali era ku bamu tekikyali kivve.

10 Embuto ezimu zijja lwa nsobi. Abakazi abamu embuto bazifuna lwa nsobi okugeza omukyala nga yamulimba nti akozesa famire pulaaningi olw’okuba ye omukyala awulira ayagala okuzaala okwefunza omusajja kumbe ng’omusajja agenda kumukyawa olw’omukozesa ensobi.

11Abamu babeera balina abaana. Abasajja abamu afuna omukyala kyokka nga ye alinayo omwana ekizibu kye si kya mwana naye olw’okuba abakyala bamanyi okunyweza omukyala kumuzaalira ng’asalawo kufuna lubuto , oluusi ekinyiiza omusajja n’amulekawo.

Ssenga Edith Mukisa agamba nti wadde omusajja asobola okuzaala omwana mu nsobi naye ssinga omuwala amanya nti omusajja yeecanga asobola okusala amagezi okumuzza awatali kumutwala ku poliisi ng’abawala bwe batera okukola era ebimu ku bye bayinza okukola bye bino wammanga;

Omukyala beera mukazi mulungi. Abasajja bakyuka singa omukyala naye asalawo n’afuuka omukyala omulungi n’akola ebintu ebiraga omusajja nti ng’oggyeeko ekyokumuzaalira bingi by’aba asubwa ssinga akusuulawo.

 Omusajja bw’akulaga nti eby’okukuwasa si by’aliko, tomulemerako nnyo. Tomanya ayinza okuba ng’alina ebizibu by’akuwonyezza. Oluusi okwesiba ku muntu atakuliiko kikufi iriza emikisa gy’abasajja abalala abandikututte.

 Omwana wo tomulaga bukyayi olw’okuba temwakwatagana na kitaawe. Mulage omukwano era akule ng’amanyi nti omwagala. Era agamba nti omusajja alimu empeke alina okufaayo bw’amanya nti teyeetegese kuzzaala mwana waakiri yandibadde akozesa enkola za famire pulaaningi n’ateesiga mukyala nti yekka y’alina okukozesa empeke oba empiso ebiziyiza okuzaala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...