TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakozi ba MTN babiri babagobye lwa kubega Gavumenti

Abakozi ba MTN babiri babagobye lwa kubega Gavumenti

By Ahmed Mukiibi

Added 23rd January 2019

EBY’OKUKWATIBWA kw’abakungu ba kkampuni ya MTN ku kisaawe e Ntebe birimu akakuku n’embiranye ey’amaanyi wakati wa Uganda ne Rwanda, okusinziira ku nsonda mu byokwerinda.

Deportedmtnstaff 703x422

Annie Bilenge Tabura ne Oliver Prentout abaagobeddwa mu ggwanga

Abakungu babiri aba kkampuni y’amasimu eya MTN; Olivier Prentout enzaalwa ya Bufaransa ne Annie Bilenge Tabura baakwatiddwa ku Mmande ne babibasibirako nga tebeesiimidde olw’ebigambibwa nti babadde beeyambisa ebifo byabwe mu kkampuni ya MTN okweyingira mu bikolwa ebisekeeterera ebyokwerinda bya Uganda.

Prentout y’abadde kitunzi omukulu owa MTN nga yakwatiddwa ku Mmande ku kisaawe e Ntebe ate Tabura y’abadde maneja avunaanyizibwa ku kunoonya obutale n’okusaasaanya ebyamaguzi bya MTN nga naye yakwatiddwa ku Mmande.

Tabura enzaalwa ya Rwanda baamukwatidde ku ofiisi z’ettabi lya MTN e Kololo ne babimusibirako ekiwejjowejjo ng’ali waabwe e Rwanda ate Prentout yatikkiddwa ku nnyonnyi yennyini eyabadde emuggye e Paris mu Bufaransa n’addaayo ku butaka nga teyeesikidde kanyeebwa.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga kiriko omukono gw’omumyuka w’omwogezi wa poliisi Polly Namaye Bagambaki kyategeezezza nti abakungu ba MTN bombi, Prentout ne Tabura kizuuliddwa nga babaadde baabulabe eri ebyokwerinda by’eggwanga.

Namaye yagambye nti okubibasibirako kiyambye nnyo okulinnya eggere mu nteekateeka z’abakungu abo ne b’egenti baabwe okutabula n’okutaataaganya ebyokwerinda bya Uganda.

Ensonda mu bitongole ebyokwerinda zaategeezezza nti okukwatibwa kw’abakungu ba MTN kwekuusa ku bikolwa ebyokusekeeterera ebyokwerinda bya Uganda abakungu abo bye baludde nga beenyigiramu nga basomola ebyama okubitwala mu mawanga amalala.

KAMPUNI YA MTN YEEYAMYE

KKampuni ya MTN yafulumizza ekiwandiiko ng’ennyonnyola nti; abakungu baayo bombi baakwatiddwa ne bazzibwa ku butaka bwabwe nga tebeesimidde.

Ekiwandiiko kya MTN kyategeezezza nti, Prentout yakwatiddwa ku Lwomukaaga nga January 19, 2019 ate Tabura yakwatiddwa ku Mmande nga January 21, 2019 era bombi bazziddwaawo ku butaka bwabwe e Bufaranbsa ne Rwanda.

Aba MTN beeyamye nti abakozi baabwe bajja kusigala nga bawulize era nga bagondera amateeka ga Uganda.

Bino bigenze okubaawo nga kkampuni ya MTN eri mu nteeseganya ne Gavumenti ku by’okwongezzaayo layinsi yaayo wabula ng’enteeseganya zikyagulumyemu olw’ensimbi MTN z’eteekwa okusasula.

Layisinsi ya MTN ey’emyaka 20 yaggwaako nga October 20, 2018, Gavumenti n’ebawaayo layisinsi ez’ekiseera za mirundi ebiri ng’eyasembyeyo nayo yaweddeko nga January 20, 2019.

Wabula tewali kyakkaanyiziddwaako ku nsimbi MTN z’erina okusasula.

Kigambibwa nti Gavumenti eyagala MTN esasule ddoola obukadde 100 okuweebwa layisinsi ey’emyaka 10 omuwendo aba MTN gwe baakungiriza nti munene nnyo nga baagala okusasula ddoola ezitawera bukadde 50.

RWANDA NNYIIVU Rwanda egugumbudde Uganda ku by’okutwatibwa n’okutikka munnansi waayo Annie Bilenge Tabura n’etegeeza nti okwo kuwoolera ggwanga n’okutulugunya omuntu atalina musango.

Minisita wa Rwanda omubeezi avunaanyizibwa ku mukago ogwa East African Community, Olivier Nduhungirehe yategeezezza nti Rwanda ateekateeka okusaba Uganda ennyonnyole ku kyakwasizza n’okugoba munnansi waayo.

Nduhungirehe yabuuzizza lwaki Uganda etulugunya n’okuyisa obubi bannansi ba Rwanda nga yo Rwanda ssi ky’ekola n’agamba nti Uganda erina okunnyonnyola kubanga Tabura ssi ye munnansi wa Rwanda asoose okuyisibwa obubi obw’ebyokwerinda b’omu Uganda.

Yagasseeko nti waliwo ne bannansi ba Rwanda abalala abawerako abazze bakwatibwa ebitongole bya Uganda ebyokwerinda kyokka amayitire gaabwe tegamanyiddwa n’agamba nti Gavumenti ya Rwanda ateekateeka okuweereza okwemulugunya kwayo okutongole.

Enkolagana ya Uganda ne Rwanda etutte ebbanga ng’etera n’egolongotana olw’ensonga ezitali zimu naddala ezeekuusa ku byokwerinda ng’amawanga gombi geerumiriza okuwa obubudamu abantu abalina ebiruubirirwa eby’okutaataaganya ebyokwerinda byago.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...