TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebbanja lya bbanka lya buwumbi 34 lisattizza omugagga wa SENANA supamaketi n'addukira mu kkooti

Ebbanja lya bbanka lya buwumbi 34 lisattizza omugagga wa SENANA supamaketi n'addukira mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2019

OMUGAGGA nannyini SENANA atuula bufoofofo olw'ebbanja lya bbanka ya Standard Chartered. Bagamba bamubanja ssente 34,948,327,483. Kati SENANA yeekubidde enduulu mu kkooti emutaase ku nsonga eno.

267343521452521061744877399390992720500833n 703x422

BYA ANNET NALUGWA

OMUGAGGA nannyini SENANA  atuula bufoofofo olw'ebbanja lya bbanka ya Standard Chartered. Bagamba bamubanja ssente 34,948,327,483. Kati SENANA yeekubidde enduulu mu kkooti emutaase ku nsonga eno.

Farida Nabirongo nnannyini supamaketi ya SENANA ng'eri ku poloti 24-27 ku Buganda road mu maaso g’ekkanisa ya Watoto ( eyali KPC) akyalemeddwa okufuna ku kalembereza olwa kye yayise ebikolwa bya bbanka eno ebimunyingiriza, n'asaba kkooti eragire bbanka eno ekole embalirira ku bbanja lye, n'okumuddiza ebyapa bye n'ebyobugagga ebirala.

Ensonga ze yazitutte mu kkooti Enkulu etawulula enkaayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala ng'omusango guno guli mu maaso g'omulamuzi Richard Wejuli Wabwire agenda okuguwulira.

.............................................................................................................

Abagagga abalala abazze baleppuka n'amabanja

Omugagga wa Conrad Plaza ebbanja limusattizza: DFCU yeeswanta kutunda kizimbe kye

Omugagga Bitature bamututte mu kkooti lwa bbanja lya 954,780,618

Omugagga wa Sojovalo asattira lwa bbanja lya buwumbi 7: Bbanka wooteri egitunda ku nnyondo!

Bbanka eboye ebintu by'omugagga wa JBK General Medical Clinic lwa bbanja lya bukadde 100

..............................................................................................................

Mu mpaaba ya Senana Investments Ltd egamba nti bwe yali yeewola ebbanja lino yawaayo omusingo gw'ebintu bino wammanga;

Mengo Kibuga bbuloka 3 poloti 57, 701,702 e Makerere, Mengo Kibuga bbuloka 20 poloti 1067 Busega ne FRV 355 folio 21 poloti 21-27 ku Buganda road.

Wabula nga August 3rd 2018 bbanka n'emuwa ekiwandiiko ekimubanja nga bwe batiisatiisa n'okutunda eby'obugagga bye bye yawaayo.

.........................................................................................................

Vidiyo z'abagagga abalala abappuse ne looni za bbanka

 

Ye agamba nti yasasula dda ebbanja era asabye kkooti ewalirize bbanka okuteekawo embalirira, okumuddiza ebyapa bye n'ebirala.

Wabula aba bbanka ya Standard Chartered  mu mpoza yaabwe mu buwandiike bagamba nti SENANA investments Ltd yasaba looni ez'enjawulo wakati wa 2015 ne 2017 ne ziwera 32,380,627,000/= era omusingo n'ewaayo ebintu ebyo waggulu. 

SENANA investments Ltd yasaba sitetimenti ya bbanka ne bagikwasa dayirekita wa kkampuni eno, Farida Nabirongo nga October 17 omwaka oguwedde. 

Wabula SENANA investments tesasulako ku bbanja era nga baakoma okubala nga  June 20 2018 nga kati ssente zeetuumye ziri 34,948,327,483.

Ebikwata ku Farida Nabirongo nnannyini SENANA Investments Limited

  • Amaka ge gali Bugonga Ntebe.
  • Mu njogera ennyangu yalozaako ku busuubuzi bw'amagendo.  Ekisinze okumusitula mu bizinensi y'enkola ye ey'Abayindi.
  • Nabirongo emirimu gye omuli amaduuka n'ebizimbe abikolera mu kkampuni ye eya SENANA Investments Ltd era amakanda yagassa ku kizimbe kya Kizimbe kya Nabugabo Business Centre ekya Epumark Kagoro. Ebintu by'atunda ng'ebisinga abinona China ne Dubai. 
  • Y'omu ku bakyala abeewaayo okusuubula e Kisumu n'e Nairobi mu Kenya okuva ku mulembe gwa Amin nga basalinkiriza okuyita ku loodibulooka okuyingiza emmaali.
  • Anoonya amagoba matono ku bintu. Mu kifo ky'okunoonya ennusu ku nnusu. Ye aleeta ebintu bingi n'abiryako amagoba matono kyokka n'azaawo mangu.
  • Aba  Shumuk, abaali bannannyini ttaka okuli ekizimbe kya SENANA ku Buganda Road n'okutuusa kati bakyatolotooma! Bagamba nti eyali Crane bank yatunda eky'obugagga kyabwe ekiri ku FRV 355 folio 21 poloti 21-27 ekisangibwa ku Buganda road nga kibalirirwamu obukadde 3 obwa ddoola ne bakiguza Farida Nabirongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...