TOP

Aba Blood Bank balaajanidde Gavumenti

By Scovia Babirye

Added 24th January 2019

Aba Blood Bank balaajanidde Gavumenti

Red1 703x422

Dorothy Kyeyune akulira etterekero ly'omusaayi ng'annyonnyola

BAKULIRA etterekero ly’omusaayi e Nakasero balaajanidde Gavumenti okwongera ku ssente z’ebawa basobole okwewala ebbulwa ly’ebikozesebwa.

Bino byogeddwa akulira etterekero lino Dorothy Kyeyune mu lukiiko lw’abannamwulire e Nkasero n’ategeeza nti ebbula ly’ebikozesebwa mu kwekebejja omusaayi n’okugusengeka mu biyinja kye kivuddeko ebbula ly’omusaayi kuba tebasobola kugaba musaayi gutali mwekebejje.

 muwala nga yekebejja etterekero lyomusaayi Omuwala nga yekebejja etterekero ly'omusaayi

‘’Sikituufu nti omusaayi gwabuze wabula tetusobola kugaba musaayi mu malwaliro nga tetusoose kugwekebejja naye omusaayi weguli era mu sitooko tulinamu  ‘’units’’ z’omusaayi emitwalo 3 naye gwonna simwekebejje. ‘’Kyeyune bweyategeezezza .

Agamba nti bamaze emyaka etaano nga basaba Gavumenti eyongeze ku mbalirira yaabwe naye nga  tekikolebwako era kino kyekiviiriddeko n’ebbula ly’ebikozesebwa kuba ssente zebafuna zaggwawo mu myezi 6 era wano wasinzidde n’ategeeza nti betaaga  obuwumbi 32.29 buli mwaka mwaka gw'eby'ensimbi  okusobola okutambuza obulungi emirimu gyonna.

Ayongeddeko nti ebikozesebwa mu kwekebejja omusaayi byabaggwako wiiki bbiri emabega era bawandiikira minisita  w’ebyensimbi naye n’awandiikira aba National Medical Stores ng’abalagira okwewola ebikozesebwa  nti Gavumenti ejakusasula oluvannyuma.

Agamba nti omwaka guno balina ekiruubirirwa kya kukungaanya ‘’units’’ z’omusaayi emitwalo 30 naye betaaga okwongera ku bungi bw’emmotoka ezitwala abakozi mu byalo okukungaanya omusaayi, ebikozesegenda mu kukungaanya n’okwekubejja omusaayi wamu n’okwongera ku bunene bwa sitoowa awaterekerwa omusaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....