TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okukubwa abakozi ba KCCA ayagala bamuliyirire

Agambibwa okukubwa abakozi ba KCCA ayagala bamuliyirire

By Moses Lemisa

Added 25th January 2019

Agambibwa okukubwa abakozi ba KCCA ayagala bamuliyirire

Seb2 703x422

OMUSUUBUZI   yekokola a  abakozi  ba kcca olw'okumutusaako obuvune nga mu kiseera kino tasobola kubaako kyeyeekolera wadde okuyimitrizaawo famire ye.

Irene Nakafeero 34 omutuuze  w’omu Good Hope zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe eyali atambula yekka mu kiseera kino atambulira ku miggo oluvannyuma  lw’abakozi b’ekitongole kya kcca abaali  bagogola omwala ku kaleerwe   okumukuba  ekibaawo ku kugulu kwa ddyo eggumba ne limenyeka.

Nakafeero yategeezezza nti yali musuubuzi wa butungulu , Mboga n’ebirala mu katale ka kizito wabula nga 5/January /2018   omukozi wa KCCA yakwata ekibaawo n'akimukuba ku kugulu n'agwa wansi oluvannyuma aba KCCA ne bamulinnyisa ku piki piki zaabwe ne bamuddusa ppaka  Mulago olwatuuka eyo ne bakizuula nti yali yali amenyese okugulu.

Ategeezezza nti oluvannyuma lw'okumusuula e Mulago tebaddamu kulabirako nga yamalayo emyezi esatu gye baamuteeramu ekyuma mu kugulu era ngfa qkati atambulira ku miggo mu bulumi ob'wekitalo.

Yayongeddeko nti eky’okulya tebalina abaana basiibirira mazzi olumu ne bagasulirira nga n’eddagala takyalimira olw’obutaba na ssente zirugula  enju bamubanja emyezi 6 ng’era nnanyini mayumba amubanja emyezi 6.

Yayongeddeko nti ng’amaze okuva ku kitanda yagenda ku kitebe kya  KCCA ekya City Hall gye yasisinkana Sajjabi n'amugamba nti bagenda kuwandikira munnamateeka waabwe kati wiiki satu tebamuddangamu  , yagenzi ewa Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe

Yagambye nti KCCA yasindika  abakozi baayo mu kifo we baamukubira ne bakung'aanya obujulizi obulaga nti omusirikale  w’ekitongole yankuba ne ku poliisi y’oku kaleerwe

MEEYA AYOGEDDE

Emmanuel Sserunjogi meeya we Kawempe yategeezezza Bukedde ku ssimu nti ensonga Nakafeero  agimaanyiko agenda ku mutwala mu bannamateeka ba KCCA balondoole ensonga ye kuba bw’ekiba ng’omukozi wa  w’ekitongole ye yamukuba ekibaawo  ekitongole kirina okumufaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bujingo2703422 220x290

Bugingo ennyumba gye yazimbidde...

OMUSUMBA Aloysius Bugingo akudaalidde abantu ababadde balowooza nti, enju ye gaggadde gy’azimbira omugole Susan...

Lab2703422 220x290

Aba Ssebulime balangidde minisita...

FAMIRE ya Ronald Ssebulime banyiivu olwa kye baayise Minisita Nantaba okwongera okubalaata n’atuuka n’okujaguza...

Tta 220x290

Nantaba awadde Museveni amannya...

MINISTA Idah Erios Nantaba akaabidde mu kusaba mw’agambidde nti abaagala okumutta bali mu Gavumenti mwennyini era...

Lumba 220x290

Abadde afera abaagala Viza bamuyodde...

KITUUFU Kampala si bizimbe. Abantu basula bayiiya ng’ate abalala bafera bannaabwe okuba obulungi.

Kola1 220x290

Empeta za bba wa Babirye zibuzaabuza...

ABALONZI b’omubaka Paul Musoke Ssebulime owa Buikwe County North era bba w’omubaka omukazi owa Buikwe bali mu kwewuunaganya...