TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyayuzizza ebbaluwa ya LC gamumyukidde ku Poliisi

Eyayuzizza ebbaluwa ya LC gamumyukidde ku Poliisi

By Moses Lemisa

Added 25th January 2019

Eyayuzizza ebbaluwa ya LC gamumyukidde ku Poliisi

Sab2 703x422

OMUSUUBUZI  gamumyukidde ku poliisi lwa kuyuzaamu bbaaluwa ya LC eyamuweereddwa ng’alina amuvunaana

Noordine Kasozi  omusuubuzi ng’alina edduuka mu Kibe zooni ku Kaleerwe yatunudde ebikalu bwe yakwatiddwa  akakiiko ka LC ya Kibe ne kamutwala ku poliisi y’oku Kaleerwe nga bamulanga okunyomoola LC y’ekitundu bwe yamutaddemu ekitiibwa n’emuwandiikira ebbaluwa nga waliwo omutuuze amuvunaana nga bwe yagula essaawa muduuka lye n'agaana okugimuwa lwa 5000 ezasigalayo .

Sheikh Swaibu Nkalubo Tomusange 90  yalumirizza Kasozi nti  omwaka oguwedde mu Feb yagenda ku Dduuka  ng’ayagala essaawa y’oku kisenge gye baamulamulira 45000/ n'asasulako 40000/ nga yalina okutwala balansi ow’e 5000 bamuwe essaawa ye , ssente bwe zamubula n'asalawo okuddayo okudduka abannyonnyole bamuwe essaawa oba sikyo bamuddize ssente ze yasasulako.

Yagambye nti buli lwe yagenda nga kudduuka nga tebamufaako okutuusa ku bwe yagenze  ku LC n’emuwandikira ebbaluwa ng’emuyita agende abannyonyole ensonga muzeeyi Tomusange zamuvunaana.

Omuwandiisi ku lukiiko lwa LC  yatwalidde Kasozi ebbaluwa kudduukalye era Kasozi olwagikutte n'agimuyuliza mu maaso  ssaako n’okwagala okukuba omuwandiisi.

 

Ensonga zeeyongeddeyo poliisi n’ekwata kasozi  ng’omusango guli   Fayiro  nnamba SD REF : 19/18/01/2019 , Kasozi yategeezezza nti Tomusange mu kugenda kudduuka okusasula ku ssaawa si ye yaliwo waliwo mukyala , yagasseko n’eyetonda olw’okuyuza ebbaaluwa ya LC

Sulaiman Busulwa ssentebe wa Kibe ne Isma Kibe omuwanika ku kakiiko ka LC  baategeezezza nti Kasozi kye yakoze okuyuzza ebbaaluwa ya LC kikyamu nnyo  ng’era aba yagyemedde gavumenti Kibe yategeezezza nti Kasozi ne LC enkadde yali agiyisaamu amaaso ng'era yayuzzako ne ku bbaluwa ya nga guno mulundi gwa kubiri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...