TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababbi bakubidde ssentebe essimu ekiro bw’afulumye ne bamukuba akatayimbwa

Ababbi bakubidde ssentebe essimu ekiro bw’afulumye ne bamukuba akatayimbwa

By Meddie Musisi

Added 26th January 2019

SSENTEBE wa LC1 abadde yeegulidde erinnya mu kulwanyisa obubbi naddala obw’ebisolo mu kitundu ky’e Nabbaale, ababbi bamusalidde olukujjukujju ne bamuyita mu matumbibudde nga beefudde abatuuze abafunye obuzibu, olufulumye mu nju ye ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe.

Funawo 703x422

Ssentebe Wasswa ng’ali mu ddwaaliro e Mulago. Ku kkono bw’afaanana.

Muhamad Wasswa, Ssentebe wa Gwendidde LC 1 e Kalagi mu Ggombolola y’e Nabbaale mu Disitulikiti y’e Mukono abazigu gwe baakubye akatayimbwa ku mutwe ne bamuleka nga balowooza nti bamusse mu kiro ekyakeeseza Olwokusatu.

Muto wa Wasswa, Alex Kazibwe yagambye nti, okumukuba baasoose kumukubira ssimu ku ssaawa 8:00 ez’ekiro nga beefudde abatuuze ne bamutegeeza nga bwe baabadde balumbiddwa ababbi bw’atyo n’afuluma adduukirire kyokka yabadde yakatambulako ebigere bibale ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe.

Mukyala wa Wasswa, Jalia Tindimweba eyasangiddwa ng’amujjanjaba e Mulago yagambye nti omuntu eyakubidde bba essimu yabadde mukazi n’amusaba obuyambi nti yabadde alumbiddwa ababbi.

Tindimweba agamba nti, “Ebadde nkola ya mwami wange okufuluma buli kiro n’adduukirira ababa bamukubidde essimu nga bafunye obuzibu era ne ku mulundi guno bwe kyabadde, kyokka teyategedde nti batemu be baamukubidde” Tindimweba bwe yategeezezza ng’amaziga gamuyitamu.

Wasswa okuva lwe yatuusiddwa e Mulago yabadde tannadda ngulu wadde ng’abasawo bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte