TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Ssebaggala asiimye Gav't ya NRM olw’enkulaakulana n’okunyweza eby’okwerinda

Bp. Ssebaggala asiimye Gav't ya NRM olw’enkulaakulana n’okunyweza eby’okwerinda

By Henry Nsubuga

Added 27th January 2019

Omulabirizi w’e Mukono James William Ssebaggala asiimye gavumenti ya NRM olw’ebyo by’esobodde okutuukako mu bbanga ery’emyaka 33 bukyanga etuuka mu buyinza.

Mknand3 703x422

Bp. Ssebaggala ng'ayogera eri Abakulisitaayo mu Lutikko e Mukono. (EKif. Henry Nsubuga)

Bp. Ssebaggala anokoddeyo enkulaakulana mu bitongole eby’enjawulo omuli enguudo zimwasanjala ezizimbiddwa, okuzimba amasomero n’amatendekero aga waggulu, okutumbula eby’obulamu ssaako okunyweza eby’okwerinda by’eggwanga ne bibeera gguluggulu.

Bino Bp. Ssebaggala abyogeredde Mukono ku Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya ku kitebe ky’obulabirizi bwe ekikulu bw’abadde akulembeddemu okusaba mw’ateereddeko abaana 63 emikono.

Ono asabye Abakulisitaayo n’abaana b’ataddeko emikono okulabira ku balwanyi ba NRA abasalawo okugenda mu nsiko ne balwanirira emirembe egiganyudde Bannayuganda bonna n’agamba nti bano baakozesa obuvumu, obumalirivu okwewaayo n’obugumiikiriza ekyabayamba okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe ate ne kibakuumira mu buyinza emyaka 33 be ddu.

Ate abuulidde, Rev. Asaph Mugabi asabye abazadde okwemanyiiza okusabira abaana baabwe emikisa nga kino basaanidde okukikolanga nga tebannaba nakubatwala mu bakulembeze ba ddiini be basaba bulijjo okubasabira.

Mu kusaba kuno, omukulu w’essomero ly’obulabirizi erya Bishop West P/S Lydia Nakachwa akulembeddemu abasomesabe ne bagenda mu maaso g’Omulabirizi Ssebaggala okwebaza olw’okusobola okuyisa obulungi abayizi mu bigezo bya PLE.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte