TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'emyaka 5 alumirizza ssengaawe okumusuula mu nva

Ow'emyaka 5 alumirizza ssengaawe okumusuula mu nva

By Moses Lemisa

Added 27th January 2019

OMWANA ow’emyaka 5 akwasizza ssengaawe bw’amulumirizza okumukuba n’amusuula mu nva ezaamwokezza omukono.

Omukonogwanamuliogwayidde2 703x422

Namuli eyayokeddwa ssengaawe

OMWANA ow’emyaka 5 akwasizza ssengaawe bw’amulumirizza  okumukuba n’amusuula mu nva ezaamwokezza  omukono.

Zulaika Nakanjako,30,  omutuuze w’e Kyebando mu Katale zooni ng’alina woteeri mu Kibe zooni  mu Kampala  y’akwatiddwa poliisi y’oku Kaleerwe oluvannyuma  lw’okukuba   omwana wa mwannyina Zaina Namul,i 5  n’amusuula mu nva ezamwokyaomukono.

Nakanjako okukwatibwa waliwo omukyala omutembeeyi w’e ngoye Anet Bukirwa eyalabye omwana  ng’omukono guleenya ensonga nazitwala ku poliisi .

Bukirwa  omutuuze w’e Kawanda yategeezezza nti yabadde atambula n’asanga omwana  ng’omukono gwayokeddwa era olwamubizizza kye yabadde n’amutegeezza nga ssenga we bwe yamukubye n’agwa mu nva. Yagasseeko  nti olw’okuba muzadde kyamuwalirizza ensonga okuzitwala ku poliisi n’ekwata Nakanjako.

Nakanjako ng’ali ku poliisi yagambye nti Namuli mwana wa mwanyina Sulaiman  Lukwago ng’era yamukuzizza okuva obuto ng’omwana byayogera nti yamukubye n’amusuula mu nva si bituufu waliwo ababimuteekamu olw’ebigendererwa byabwe ebirala.

Yagasseeko nti ye talina mwana ku nsi ng’era omwana wa mwanyina gw’atwala ng’omwana we nga tasobola kumutulugunya .

Wabula abamu ku batuuze baagenze ku poliisi ne basigaba eyimbule Nakanjako  nga bagamba omwana okujja omukono tekyali kigenderere . Baagasseko nti bbo babadde bamaanyi nti omwana wa Nakanjako kuba amuyisa bulungi bakitegedde ku luno nti wa mwanyina.

 Wabula omwana yategeezezza  abasirikale nti ssenga ye yamukubye nagwa mu nva z’ebijanjaalo .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...