TOP

Eyabadde agenda okugula ettaka bamuwambye

By SHAMIM NABUNNYA

Added 28th January 2019

Eyabadde agenda okugula ettaka bamuwambye

Web2 703x422

usisi ng’ali ku kitanda.

OMUVUBUKA abadde agenda okugula ettaka agudde ku kyokya mukwano gwe ow’okulusegere bw’amukubye eddagala ne limuwunza n’amubbako obukadde butaano.

Jimmy Musisi 27, ow’e Mbuya lll mu Munisipaali y’e Nakawa era nga musuubuzi w’amasimu ku Garden City mu Kampala y’awambiddwa mukwano gwe bw’abadde ava okuggya ssente e Ndejje mu disitulikiti y’e Wakiso ng’agenda okugula ettaka e Mityana. Abatuuze abaabadde bayigga Musisi okumala ennaku ttaano baamusanze asuuliddwa ku mulyango gwa mukyala we Hasifa Yawe e Mbuya nga tamanyi biri ku nsi.

Mwannyina wa Musisi Christine Nankya yategeezezza nti babadde awaka ne bawulira abatuuze nga baleekaana nti omuntu gwe banoonya azuuliddwa e Mbuya ng’ali mu mbeera mbi ne bamutwala mu ddwaaliro e Kiruddu okujjanjabibwa.

Nankya yagambye nti amaze wiiki nnamba ng’anoonnya mwannyina Musisi era yali amukubidde essimu n’amutegeeza nga bwe yali agenda okufuna ssente asobole okugula ettaka kyokka ku Lwokubiri yakuba essimu ye nga teriiko nga ne mukyala we tamanyi gy’ali.

Yagambye nti omuyiggo gw’agenda mu maaso era poliisi ng’ekulembeddwa akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe, Gloria Rukundo baalumise essimu ya mukwano gwa Musisi, Tonny Zziwa ne bazuula nti gwe yasembye okwogera naye. Rukundo yagambye nti bwe baakubidde Zziwa essimu basobole okukwatagana banoonye mukwano gwe n’agaana kyokka oluvannyuma (Zziwa) yakubidde abooluganda lw’eyabuze n’abagamba nti azuuliddwa e Mbuya.

Zziwa bwe yatuuse ku ddwaaliro e Kiruddu abaserikale abaabadde mu ngoye eza bulijjo baabadde baamaze dda okumulinda era bwe yakwatiddwa yakkirizza n’abatwala ewa muganzi we gye yali yakweka Musisi. Zziwa bwe yatuusiddwa ku poliisi yategeezezza nti waliwo muganzi we gwe baakolagana naye okuwamba Musisi ng’ali Kisoga naye poliis

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte