TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Yiga Mbizzaayo twamugobye mu Uganda - Ssennyonga

Paasita Yiga Mbizzaayo twamugobye mu Uganda - Ssennyonga

By Musasi wa Bukedde

Added 28th January 2019

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian Life Church agambye nti, amaanyi ge yatadde ku Paasita Augustine Yiga 'Mbizzaayo' okwanika obufere bwe, kye kyamuwalirizza okudduka mu Uganda n'agenda e South Africa ng’ebintu bigaanyi.

Yig1703422 703x422

Paasita Yiga Mbizzaayo ne Paasita Ssennyonga bwe batalima kambugu

“Yiga mbadde mmwetoolodde nga takyalina bantu b'alimbalimba n'okufera, namusindiikirizza South Africa", Ssennyonga bwe yategeezezza.

Yagambye nti olutalo terunnaggwa kuba ategese ekibinja ky'abasumba okugenda e South Africa n’obutambi babulage abantu baayo obuliko obufere bwa Yiga bw'azze akola n’abba abantu.

Ssennyonga yagambye nti alina bwino mungi ku bufere bwa Yiga n’alabula nti, Yiga okuddukira e South Africa teyeeyibaala nti yawonye kuba ajja kumukaluubiriza obulamu buli w'anaabeera okutuusa ng’alekedde awo okufera abantu nga yeerimbika mu kubuulira enjiri.

ATUNDA AMAKA GE

Omwaka oguwedde, Paasita Yiga Mbizzaayo yasengukidde e South Africa nga kigambibwa nti ebizibu bibadde bimuyitiriddeko e Uganda.

Nga tannasitula, kigambibwa nti, yasoose kutunda maka ge agali e Mengo era gwe yagaguzizza n’agamenyawo n’atandika okuzimbawo kalina.

Ennyumba eno eri mu Bulange Zooni 'A', okuliraana amaka g’eyali Katikkiro wa Uganda, Apollo Nsibambi.

Yagitunze obukadde 250 era waabaddewo okusika omuguwa ng’abaana be abamu tebaagala atundewo kubanga ekifo kya bbeeyi.

Mukwano gwe ayitibwa Kojja Kimbowa ye yaguze ennyumba eno era n’agimenyawo okuzimbawo ebintu bye ebirala. Abamu ku baweereza mu kkanisa ye bagamba nti yabategeezezza nti, yafunye 'Obunnabbi' agende agaziye obuweereza, ensonda zaategeezezza nti abadde mu kattu ng'okava ku nsimbi ze baamufeze n’emisango ena gye baamuggulako ku poliisi e Kawaala.

Bwe yabadde asimbula, ekkanisa ye eya Revival Church e Kawaala yalese agikwasizza mutabani we, Andrew Jjengo era kati y’agiddukanya.

Ttivvi ye eya ABS yagirese mu mikono gya Richard Kimbowa amanyiddwa nga Kojja Kimbowa omutabuzi w’eddagala ly’ekinnansi. Kimbowa era ye yaguze n’ennyumba ya Augustine Yiga 'Mbizzaayo'.

Ssennyonga amaze ebbanga ng’agugulana ne Yiga ssaako abasumba abalala okuli; Nabbi Samuel Kakadde owa Synagogue Church of ALL Nations ku Bbiri n’abalala ng’abalumiriza nti, balina bye bakola ebikyamu.

Ku nsonga za Yiga, Sennyonga yategeezezza Yiga tagenda kubandaala South Africa nayo ajja kuddukayo afune we yeewogoma kuba bwino gwe bamulinako talina alina!

Ssennyonga yatwala Yiga mu Kkooti Enkulu n’amuvunaana okumwogerako kalebule nti yakwata omuwala Omuzungu nga bali ku nnyonyi eyali egenda mu Amerika era okuva olwo baamugobera ddala mu Amerika obutaddamu kulinnyayo.

Kkooti yabawa amagezi basooke bakkaanye Yiga n’agaana era omusango gukyayimiridde.

YIGA ALUMIRIZA SSENNYONGA

Yiga era alumiriza Ssennyonga okubba ettaka ly’e Bwaise we yakola ekkanisa n’okupanga obujulizi abantu bwe baali bawa mu njiri ye gye yatuuma ‘P5’ nti era abatendekera mu kiyumba ekimu e Kireka.

Kyokka Ssennyonga agamba nti bino bya kumwonoonera linnya era Yiga ajja kubisasulira.

Yagambye nti amulinako bwino omuli Yiga okukozesa abakyala abasabira mu kkanisa ye, okubazaalamu abaana n’atabalabira n'okubafera nti akola ebyamagero olwo n’abafunamu ssente.

“Mu ngeri yonna tugenda kusaanyaawo Yiga era asigazza kimu kwenenya naye tumumaze. Bw’anaawona kino ekiriwo mu kaseera kano nkukakasa nti ekiddako tajja ku kukisimattuka mpozzi nga Katonda gwe tusinza ssi mulamu" Ssennyonga bwe yaweze.

OLUTALO KU BASUMBA ABALALA

Ssennyonga agambye nti kkampeyini eno tebagitunuulizza Yiga yekka wabula waliwo amakanisa agasoba mu 50 mu Kampala n’emiriraano ng'abasumba babbirayo abantu buli lwa Ssande.

“Ebintu bye bakolera mu kkanisa ezo byesisiwaza buli muntu, kigambibwa nti bano beegatta n'abakazi okufuna amaanyi agakola ebyamagero era y'ensonga lwaki Yiga kumpi buli mukazi asabira mu kkanisa ye yeegatta naye mu kaboozi.

Yayongeddeko nti, “ensonga zino tuzirina mu buwandiike ne mu butambi obwakwatibwa ng’abantu bano bakola ebikolwa ebyekirogo era nga n’abavunaanyizibwa ku byokwerinda mu ggwanga okuli omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martins Okoth Ochola, akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu ggwanga Grace Akulo n’abakulu abalala mu Gavumenti ensonga zino twazibatwalira dda", Ssennyonga bwe yakakasizza.

Ssennyonga era yasabye abantu bonna okubeegattako mu kulwanyisa abeeyita bannabbi abalala abakola ebintu nga ebya Augustine Yiga.

Ssennyonga yalangiridde enkola gy’atandise okutalaaga eggwanga ng’ayanika abasumba b’ayita abafere yadde nga afunye okuwakanyizibwa okuva mu bannamateeka b’abasumba abo b'agamba nti, beeyita abanene okubalemesa okwogera.

Yagambye nti, “ebiseera ebisinga bwe tuba tuvumirira abantu bano baagala tuboogereko katono ate nga tetwogera mannya gaabwe naye tosobola kuvumirira mukubi wa katayimbwa ng’omutegedde ate ne weewala okwogera erinnya lye kiba kikukakatako okumwasanguza ensi emumanye."

Yayongeddeko nti emirundi mingi amateeka gabakugira buli lwe bavaayo n’amaanyi okulwanyisa abasamize abeerimbise mu kuweereza Katonda naye ne bafuna okutiisibwatiisibwa okuva mu boobuyinza nga babalemesa okuboogerako mu lujjudde.

Oluvannyuma lw’amawulire okufuluma nti Yiga Mbizzaayo adduse mu ggwanga, waliwo akatambi akagambibwa nti kaakoleddwa Yiga yennyini ng’ategeeza nti essaawa yonna akomawo era ye tannadduka era agenda kutegeka olukuhhaana ggaggadde ng’akomyewo.

Ebyo byabadde bikyali awo, amawulire ne gatandika okusaasana ku Lwokutaano ekiro nti Paasita Yiga afudde.

Bukedde yatuuse ku kkanisa ya Yiga eya Revival Church e Kawaala ne batutegeeza nti omuntu waabwe gyali mulamu taliiko yadde awamuluma era ne banenya abo abagenda babika Paasita waabwe.

Kyokka abamanyi enkola ya Yiga baategeezezza nti, kyandiba nga Yiga yennyini ye yeebise Bannakampala basigale nga bamwogerako olwo aleme kusanguka mu mitima gyabwe.

Obufere n’obutali bwesimbu mu basumba b’abalokole mu Uganda kyawalirizza gavumeti okuleeta ekirowoozo ky’okubaga etteeka eriragira buli ayagala okufuuka paasita asooke asome afune diguli mu by’eddiini (Theology).

Kino kyavumiriddwa nnyo kumpi bapaasita bonna mu kusaba okwabaddewo okw'okumalako omwaka oguwedde 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...