TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balaam ow'ebivvulu awandiisizza ekibiina kya People Power

Balaam ow'ebivvulu awandiisizza ekibiina kya People Power

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2019

Balaam ow'ebivvulu awandiisizza ekibiina kya People Power

Bam2 703x422

Balaam mu Katono ate Bobi Wine mu kifaananyi ekinene ng'awaga

BOBI Wine bamuteze akalippo bwe bamwesoose ne bawandiisa erinnya lya “People Power” ly’abadde akozesa mu kampeyini z’ebyobufuzi z’aliko. Okuva mu kampeyini mwe yawangulira ekifo ky’omubaka wa Kyaddondo East mu 2017, omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) abadde akozesa ehhombo ya “People Power” era ne lifuuka erinnya ly’ekisinde ky’enkyukakyuka z’aluubirira okuleeta.

Wabula ttiimu eyakulembeddwa omutegesi w’ebivvulu, Balaam Barugahara yamwesoose n’ewandiisa erinnya lya ‘People Power’ ng’eryabwe era ne balifunako obwannannyini.

Bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya gavumenti baakitaputiddewo nti kano kalippo ke bateze Bobi Wine okumulemesa okuddamu okukozesa erinnya lya People Power ng’erinnya ly’ekisinde ky’akulembera ekiruubirira okuggyawo obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni mu 2021.

Mu kuwandiisa erinnya lino, baaligasseeko n’obubonero Bobi Wine bw’aludde ng’akozesa okuli ak’essaawa wamu ne langi emmyuufu nabyo ne babissaako ng’obubonero bwa kkampuni etaluubirira magoba gye baawandiisizza mu kitongole ekiwandiika amakampuni mu ggwanga. Kigambibwa nti mu kuwandiisa erinnya lino, Bobi Wine baamutadde mu kattu, okulondako ku bintu bisatu:

Okwesonyiwa okuddamu okukozesa ekya ‘People Power’ ekiyinza okumukosa mu buwagizi bwe.

Okulikozesa ne batandika okumuleppusa mu kkooti ekiyinza okumuviirako okufiirwa obudde ne ssente sinakindi okutanzibwa ssente empitirivu ssinga aba awanguddwa mu kkooti l Okusalawo n’agenda mu nteeseganya ne ttiimu ya Balaam n’abawa ssente n’abagulako erinnya.

Wabula kino kiyinza okuba ekizibu ssinga akalippo kano kabeeramu ebyobufuzi emabega waako. Samuel Lubega Mukaaku omu ku bali mu kisinde kya ‘People Power’ yagambye nti akalippo kano baakategedde gye buvuddeko era ne basalawo beerondemu abantu bawandiise erinnya lino, wabula bwe baatuuse ku ofiisi ewandiisa amakampuni ne bakabatema nti erinnya lyatwaliddwa dda. “Abaakiwandiisizza balina be bakolera naye ffe tetutidde.” Mukaaku bwe yagambye n’agattako nti naye baakimukolako mu kalulu ka 2016.

Nti yalina ekibiina kye kye yatandika ng’ali Bungereza mu 2012 n’akituuma National Alliance for Change wabula bwe yakomawo mu Uganda okukiwandiisa mu 2015 ne bamutegeeza nti erinnya eryo lyatwalibwa dda abantu abalala.

Kyokka yagumizza abawagizi baabwe nti: Ffe olutalo luno tulututte mu bantu basalewo. Abo abaakiwandiisizza, kale bagende mu bantu babagambe nti be ba ‘People Power’ abatuufu.

Yayongeddeko nti: Erinnya tujja kulikozesa era bwe baba balowooza okuwaaba, mpozzi banaawaabira ggwanga lyonna kubanga abantu bangi okwetooloola eggwanga kye boogera.

BALAAM AYOGEDDE Balaam bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yakakasizza nti erinnya yaliwandiisizza era n’ategeeza nti akabonero kaabwe ka ssaawa ne langi emmyuufu nti kyokka mu kubironda tebaagoberedde bya Bobi Wine; baakoze kintu kyabwe.

Yagambye nti yatandise ekintu kino n’akiwandiisa n’ekiruubirirwa eky’okuyamba abakadde era emiramwa kwe bayimiridde gya kukyusa bulamu bw’abakadde mu ggwanga nga bakolaganira wamu n’abantu era mu kukolagana n’abantu nti mwe baggye ekya “People Power” ekitegeeza “Amaanyi g’abantu”.

Yagambye nti kye baakoze ssi kibiina kya byabufuzi nti era tebaagala bategeerwe bubi kubanga ekintu kyabwe kya mwoyo gwa ggwanga kye baagala okutambuza ng’ekibiina ky’obwannakyewa. Yakkaatirizza nti tewali abakozesa era tebali mu byabufuzi n’agattako nti; “Simanyi lwaki ensonga eno mugiremeddeko kubanga nze sirabawo buzibu oba musango gwonna gwe nazzizza.

Ggwe olinayo omuntu yenna gw’omanyi eyawandiisa ‘People Power” n’alyoka awunzika nti bakyalina bye bategeka tayagala kulambulula bingi. Wabula yalabudde nti beetegefu okutwala omuntu yenna mu mbuga z’amateeka ssinga anaasangibwa ng’akozesa erinnya eryo n’obubonero obuliwerekera. Bwe yabuuziddwa ku Bobi Wine eyasangiddwa ng’akozesa “People Power”, Balaam yayanukudde nti: Bobi Wine abalage bwino alaga nti eryo linnya lye oba kibiina kye.

Andy Mukasa naye omutegesi w’ebivvulu owa Bbajjo Events nga muwagizi wa Bobi Wine yagambye nti Balaam ne banne bamaze ebbanga nga bapanga olukwe lw’okulemesa Bobi Wine n’okumunafuya mu byobufuzi, n’ategeeza nti kano ke kamu ku bukodyo bwe bayiseemu.

Ono agamba nti okusinzira ku kiwandiiko kye yalabyeko, Balaam baasooka kugenda mu kitongole ekiwandiisa ebibiina ne kkampuni mu ggwanga nga ennaku z’omwezi March 14, 2018 ne bakola okunoonyereza okuzuula oba Bobi Wine yali tannaba kuwandiisa linnya lino era bwe baakizuula ne balisibako (booking) era oluvannyuma ne baliwandiisa nga kkampuni etakola magoba. Bino we bibeereddwo nga Bobi Wine ali bweru wa ggwanga.

Yasookedde Jamaica ne yeetaba mu kivvulu oluvannyuma n’asisinkana Katikkiro waayo Andrew Micheal Holness era olwavuddeyo n’ayolekera Amerika gye yasisinkanidde Bannayuganda ababeera mu Washington DC era ng’asuubirwa okuyitira e Bungereza alyoke akomewo mu Uganda.

BANNAMATEEKA BAKUBAGANYE EMPAWA Bannamateeka abamu bagamba nti eky’okuwandiisa erinnya tekijja kuyimiriza Bobi Wine kukozesa kigambo, ate abalala nga bagamba nti kigenda kumubeerera kizibu.

Luyimbaazi Nalukoola akolera mu Nalukoola Kakeeto Advocates and solicitors yagambye nti: Bobi Wine ajja kuddamu akozese ebigambo bye ne langi ebya ‘People Power’ kubanga ekigambo ekyo kiva mu Ssemateeka ennyingo esooka egamba nti obuyinza bwonna buli mu bantu (Power belongs to people). Ekyo kiri mu Ssemateeka era ne Bobi Wine si ye yatandikawo ekigambo ‘People Power’ wabula abaakola Ssemateeka wa 1995.

Ekirala aba Bobi Wine bwe baba baagadde basobola n’okukiwandiisa ng’ekibiina ky’ebyobufuzi n’atwalirako ne langi n’obubonero bwakwo kubanga Balaam yawandiisizza kkampuni ssi kibiina kya byabufuzi.

Obwannannyini bw’ekintu obufuna gwe okisoose naye kino kyaliwo dda mu Ssemateeka, ne langi emmyufu aba UPC baludde nga bagikozesa era tesookedde ku People Power.

Kyokka Moses Kabuusu yagambye nti: Bwe kiwandiisibwa ng’ekyo bwe kyakoleddwa, waba tewali muntu mulala asobola kukozesa linnya eryo era kitegeeza tewali mulala ayinza kuliwandiisa okuggyako ng’otegeeraganye n’eyakiwandiisizza.

Bobi Wine bw’aba ategeka okwewandiisa ng’akozesa erinnya eryo, kitegeeza nti agenda kulabulwa akakiiko k’ebyokulonda nti ky’agezaako okuwandiisa kyawandiisibwa dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA